Okuva

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40


Chapter 17

1 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe.
2 Abantu kyebaava bamuyombesa Musa, ne boogera nti Tuwe amazzi tunywe. Musa n'abagamba nti Lwaki okunnyombesa nze? Lwaki okumukema Mukama?
3 Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta?
4 Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja.
5 Mukama n'amugamba Musa nti Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende.
6 Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri.
7 N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki?
8 Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu.
9 Musa n'agamba Yoswa nti Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki: enkya naayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange.
10 N'akola bw'atyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki : Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi.
11 Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba.
12 Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuli ne bawanirira emikomo gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa.
13 Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be n'obwogi bw'ekitala.
14 Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjuluzo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.
15 Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa bendera yange:
16 n'ayogera nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.