Essuula 2
1 Omuntu ow'omu nnyumba ya Levi n’agenda n'awasa muwala wa Levi.
2 Omukazi n'aba olubuto n’azaala omwana wa bulenzi: naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu.
3 Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'amukolera ekibaya eky’ebitoogo, n'akisiiga ebitosi n’envumbo; omwana n'amuteeka munda; n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga.
4 Mwannyinna n’ayimirira wala amanye ekinaamubeerako.
5 Muwala wa Falaawo n’aserengeta okunaaba ku mugga; abazaana be ne batambula ku lubalama lw’omugga; n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta.
6 n'akisumulula, n'alaba omwana: laba, omwana n'akaaba; n'amusaasira, n'ayogera nti Ono ye munne w'abaana ba Baebbulaniya.
7 Awo mwannyina n'amugamba omuwala wa Falaawo nti ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana?
8 Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Kale. Omuwala n'agenda n'amuyita nnyina w'omwana.
9 Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo. Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa.
10 Omwana n'akula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'afuuka omwana we. N'amutuuma erinnya lye Musa, n'ayogera nti Kubanga namuggya mu mazzi.
11 Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be.
12 N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka amukuba Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.
13 Awo ku lunaku olw'okubiri n'avaayo, laba, abasajja babiri ab'omu Baebbulaniya ne balwana: n'amugamba oli eyakola obubi nti Kiki ekikubizza munno.
14 N'ayogera nti Ani eyakuwa obukulu n'okutulamula ffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri? Musa n'atya n'ayogera nti Mazima ekigambo kino kimanyise.
15 Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okumutta Musa. Naye Musa n'adduka mu maaso ga Falaawo, n'atuula mu nsi ya Midiyaani: n'atuula wansi okumpi n'oluzzi.
16 Ne kabona ow'e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe.
17 Abasumba ne bajja ne babagoba: naye Musa n'agolokoka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe.
18 Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti Nga muzze mangu leero?
19 Ne boogera nti Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, nate n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo.
20 N'abagamba bawala be nti Ali luuyi wa? Kiki ekibalesezza omuntu oyo? Mumuyite alye emmere.
21 Musa n'akkiriza okutuula n'omuntu oyo: n'amuwa Musa muwala we Zipola.
22 N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Gerusomu: kubanga yagamba nti Nali mugenyi mu nsi etali yange.
23 Awo ennaku ziri bwe zaayitawo ennyingi, kabaka w'e Misiri n'afa: abaana ba Isiraeri ne basinda ku lw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kulinnya eri Katonda ku lw'obuddu bwabwe.
24 Katonda n'awulira okusinda kwabwe, Katonda n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
25 Katonda n'alaba abaana ba Isiraeri, Katonda n'abalowooza.