Essuula 8
1 Mukama n’agamba Musa nti yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw’atyo Mukama bwayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.
2 Era bw’onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndikuba ensalo zo zonna n’ebikere:
3 n'omugga gulijula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku kitanda kyo, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo eby'okugoyeramu:
4 n'ebikere biririnnya ku ggwe, era ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.
5 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku nsalosalo, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.
6 Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bisaanikira ensi ey'e Misiri.
7 N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri.
8 Falaawo n'alyoka abayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Musabe Mukama anziyeko ebikere nze n'abantu bange: nange naabaleka abantu, baweeyo saddaaka eri Mukama.
9 Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu ba n'abantu bo ebikere bizikirizibwe ku ggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka?
10 N'ayogera nti Ku lwa jjo. N'ayogera nti Kibe ng'ekigambo kyo: olyoke omanye nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe.
11 N'ebikere birikuleka ggwe n'ennyumba zo n'abaddu bo n'abantu bo; birisigala mu mugga mwokka.
12 Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo: Musa n'akaabira Mukama ku lw'ebikere bye yamuleetera Falaawo.
13 Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa: ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku.
14 Ne babikuŋŋaanya entuumo n'entuumo: ensi n'ewunya.
15 Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebbanga weeriri ery'okuwummuliramu, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
16 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, ebe ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.
17 Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo n’akuba enfuufu y’ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri.
18 N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza; ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo.
19 Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti Eno ye ngalo ya Katonda: Falaawo n'akakanyala omutima gwe, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
20 Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matuluutulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afuluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.
21 Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri.
22 Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwebasula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi.
23 Nange nditeekawo okununula wakati mu bantu bange n'abantu bo: jjo lwe kalibeerawo akabonero kano.
24 Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be : ne mu nsi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera.
25 Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Mugende muweeyo saddaaka eri Katonda wammwe mu nsi eno.
26 Musa n'ayogera nti Si kirungi okukola bwe kityo; kubanga tuliwa eky'omuzizo eky'Abamisiri Mukama Katonda waffe: laba, bwe tulimuwa eky'omuzizo eky'Abamisiri mu maaso gaabwe, tebalitukuba amayinja?
27 Ka tugende olugendo olw'ennaku essatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.
28 Falaawo n'ayogera nti Naabaleka; muweeyo saddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu: wabula kino kyokka, temugenda wala nnyo: munsabire.
29 Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama.
30 Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama.
31 Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa; n'amuggirawo ebikuukuulu by'ensowera Falaawo, abaddu be, n'abantu be; ne watasigala n'emu.
32 Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'atabaleka abantu.