Chapter 30
1 Era olikola ekyoto eky’okwoterezangako obubaane: olikikola n’omuti ogwa sita.
2 Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri: amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo.
3 Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola.
4 Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako.
5 Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu.
6 Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essanduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe.
7 Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa: buli nkya, bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga.
8 Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
9 Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakubadde ekiweebwayo eky'obutta: so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa.
10 Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka: n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna: kye kitukuvu ennyo eri Mukama.
11 Mukama n'agamba Musa nti
12 Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, bw'onoobabalanga; kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga.
13 Kino kye banaawanga, buli anaayitanga mu abo ababaliddwa anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: (sekeri emu yenkana ne gera amakumi abiri :) ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama.
14 Buli anaayitanga mu abo ababaliddwa, bonna abaakamala emyaka amakumi abiri oba kusingawo anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama.
15 Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe.
16 Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.
17 Mukama n'agamba Musa nti
18 Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu: n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi.
19 Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe:
20 bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama:
21 banaanaabanga bwe baryo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna.
22 Nate Mukama n'agamba Musa nti
23 Era weetwalire ku by'akaloosa ebimanyibwa, muulo ekulukuta sekeri bitaano, ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano, kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano,
24 ne kasia sekeri bitaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni emu:
25 era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu: galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako.
26 Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa,
27 ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo, ne ku kyoto eky'okwoterezangako,
28 ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo.
29 Era olibitukuza okubeera ebitukuvu ennyo: buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu.
30 Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta, n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona.
31 Era oligamba abaana ba Isiraeri nti Gano ganaabeeranga mafuta matukuvu ag'okufukibwangako eri nze mu mirembe gyammwe gyonna.
32 Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa: ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli.
33 Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga, alizikirizibwa okuva mu bantu be.
34 Mukama n'agamba Musa nti Weetwalire ebyakawoowo ebiwoomerevu, sitakite, ne onuka, ne galabano; ebyakaloosa ebiwoomerevu n'omugavu omulongoofu: byonna byenkane obuzito;
35 era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu:
36 era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe: kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli.
37 N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa: kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama.
38 Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be.