Chapter 25
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.
3 Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo;
4 n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
5 n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
6 amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
7 amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.
8 Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.
9 Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.
10 Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
11 Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola.
12 Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri.
13 Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu.
14 Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esituli bwenga n'egyo.
15 Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu.
16 Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.
17 Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.
18 Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira.
19 Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri.
20 Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.
21 Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa.
22 Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri.
23 Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
24 Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.
25 Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
26 Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
27 Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza.
28 Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo.
29 Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola.
30 Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.
31 Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo:
32 n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri:
33 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;
34 ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo:
35 n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.
36 Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.
37 Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo.
38 Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi.
39 Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.
40 Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.