Chapter 37
1 Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo bwali emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu:
2 n'agibikkako zaabu ennungi munda ne kungulu, n'agikolera engule eya zaabu okwetooloola.
3 N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, mu magulu gaayo ana; empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olumu, n'empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olw'okubiri.
4 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu.
5 N'ayingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, okusitula essanduuko.
6 N'akola entebe ey'okusaasira eya zaabu ennungi: obuwanvu bwayo emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu.
7 N'akola bakerubi babiri aba zaabu; yabakola n'eyaweesebwa, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira;
8 kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi omu ku nsonda eyo: yakola bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda zaayo ebbiri.
9 Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi baatunuulira entebe ey'okusaasira.
10 N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu:
11 n'agibikkako zaabu ennungi, n'agikolako engule eya zaabu okwetooloola.
12 N'agikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, n'alukolera olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
13 N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, n'ateeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
14 Kumpi n'olukugiro we zaali empeta, ebifo eby'emisituliro gisitulenga emmeeza.
15 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu, okusitulanga emmeeza.
16 N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ebibya byayo, n'ensuwa zaayo, okufuka nabyo, ne zaabu ennungi.
17 N'akola ekikondo ekya zaabu ennungi: yakola ekikondo n'eyaweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo byali bya zaabu emu nakyo:
18 era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu eg'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olw'okubiri:
19 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli: bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo.
20 Ne mu kikondo mwalimu ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyabyo n'ebimuli byabyo:
21 n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako.
22 Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo: kyonna kyali mulimu muweese ogumu ogwa zaabu ennungi.
23 N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi.
24 Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna.
25 N'akola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane eky'omuti gwa sita : obuwanvu bwakyo bwali mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo bwali emikono ebiri; amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo.
26 N'akibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo: n'akikolako engule eya zaabu okwetooloola.
27 N'akikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi, okuba ebifo eby'emisituliro okukisitulirangako.
28 N'akola emisituliro n'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu.
29 N'akola amafuta amatukuvu ag'okufukangako, n'obubaane obulongoofu obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu, ng'amagezi ag'omukozi w'omugavu bwe gali.