Essuula 9
1 Mukama n'alyoka agamba Musa nti Yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti Baleke abantu bange bampeereze.
2 Kubanga bw'onoogaana okubaleka n'oyongera okubakwata,
3 laba, omukono gwa Mukama guli ku magana go agali mu ttale, ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga: nsotoka omuzibu ennyo.
4 Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri n'amagana ag'e Misiri; so tewalifa n'emu mu ago ag'abaana ba Isiraeri gonna.
5 Mukama n'assaawo ekiseera kye yayagala, ng'ayogera nti Jjo Mukama bw'alikola ekyo mu nsi.
6 Mukama n'akola kiri bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa: naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tewaafa n'emu.
7 Falaawo n'atuma, laba, mu magana g'Abaisiraeri tewaali newakubadde n'emu efudde. Naye Falaawo omutima ne gukakanyala, n'atabaleka abantu.
8 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Mwetwalire embatu ez'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu mu maaso ga Falaawo.
9 Era liriba nfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, liriba jjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo, mu nsi yonna ey'e Misiri.
10 Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne liba ejjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo.
11 Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa ku lw'amayute; kubanga, amayute gaali ku basawo, ne ku Bamisiri bonna.
12 Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa.
13 Mukama n'agamba Musa nti Ogolokoka enkya mu makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya, nti Leka abantu bange, bampeereze.
14 Kubanga omulundi guno naakuleetera ebibonobono byange byonna omutima gwo n'abaddu bo n'abantu bo; olyoke omanye nga tewali mu nsi yonna afaanana nga nze.
15 Kubanga kaakano nandigolodde omukono gwange, nandikukubye ggwe n'abantu bo ne kawumpuli, wandizikiridde mu nsi:
16 naye ddala mazima kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna.
17 Okutuusa kaakano weegulumizizza ku bantu bange, obutabaleka?
18 Laba, jjo nga mu kiseera kino nditonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikanga mu Misiri kasookedde esooka okubaawo okutuusa kaakano.
19 Kale, kaakano, tuma, oyanguye okuyingiza amagana go ne byonna by'olina mu ttale; buli muntu n'ensolo abanaalabika mu ttale abataaleetebwe mu nnyumba, omuzira gulibakuba, balifa.
20 Eyatya ekigambo kya Mukama mu baddu ba Falaawo n'abaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba:
21 ataakitya ekigambo kya Mukama n'abaleka abaddu be n'amagana ge mu ttale.
22 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ne ku muddo gwonna ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri.
23 Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu: Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi ey'e Misiri.
24 Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira, omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga.
25 Omuzira ne gukuba mu nsi yonna ey'e Misiri buli ekyali mu ttale, omuntu era n'ensolo; omuzira ne gukuba buli muddo ogw'omu nsuku, ne gumenya buli muti ogw'omu nsuku.
26 Mu nsi ey'e Goseni yokka, mwe baali abaana ba Isiraeri, mwe mutaali muzira.
27 Falaawo n'atuma, n'ayita Musa ne Alooni, n'abagamba nti Nnyonoonye omulundi guno: Mukama ye mutuukirivu, nange n'abantu bange tuli babi.
28 Musabe Mukama; kubanga okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimmaze; nange ndibaleka, muleme okulwawo nate.
29 Musa n'amugamba nti Bwe ndimala okuva mu kibuga, ne ndyoka mwanjululiza Mukama ebibatu byange; okubwatuka kuliggwaawo, so tewalibeera muzira nate; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.
30 Naye ggwe n'abaddu bo, mmanyi nga temulitya kaakano Mukama Katonda.
31 Obugoogwa ne sayiri ne bikubibwa: kubanga sayiri yali etanula okubala, n'obugoogwa bwali busansudde.
32 Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa: kubanga byali nga tebinnamera.
33 Musa n'ava mu kibuga eri Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye: okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, so enkuba n'etetonnya ku nsi.
34 Falaawo bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira n'okubwatuka nga biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be.
35 Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabaleka abaana ba Isiraeri; nga bwe yayogerera Mukama mu Musa.