Chapter 1
1 Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Omuntu yenna ku mmwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi.
3 Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
4 Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira.
5 Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, era banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
6 Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo.
7 Awo abaana ba Alooni kabona banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro:
8 awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto:
9 naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10 Era oba ng'awaayo ku kisibo, kwe kugamba nti ku ndiga oba ku mbuzi, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; anaawangayo nnume eteriiko bulema.
11 Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obwa kkono mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
12 Awo anaagisalangamu ebifi byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo: awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto:
13 naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaawangayo yonna, anaagyokeranga ku kyoto: kye kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
14 Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukaamukuukulu oba amayiba amato.
15 Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto:
16 awo anaggyangamu ekisakiro kyako awamu n'empitambi yaakyo, n'akisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu:
17 era anaakayuzanga n'ebiwaawaatiro byako, takasalangamu: awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.