Essuula 6
1 Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye.
2 Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA:
3 nnalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo.
4 Ne nnyweza nate endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanani, ensi ey'okutambula kwabwe, gye baatambulamu.
5 Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange.
6 Kyova obabuulira abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy'Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n'omukono gwe ndigolola n'emisango eminene:
7 era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu migugu egy'Abamisiri.
8 Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa.
9 Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe.
10 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti
11 Yingira, ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri abaleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.
12 Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama ng'agamba nti Laba, abaana ba Isiraeri tebampulidde; Falaawo anampulira atya nze atakomolebwa mimwa?
13 Mukama n'agamba Musa ne Alooni, n'abalagira eri abaana ba Isiraeri n'eri Falaawo kabaka w'e Misiri, okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri.
14 Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe: abaana ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi: abo bye bika bya Lewubeeni.
15 N'abaana ba Simyoni; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani: abo bye bika bya Simyoni.
16 Ne gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe; Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali: n'emyaka egy'obulamu bwa Leevi emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
17 Abaana ba Gerusoni: Libuni ne Simeeyi, mu bika byabwe.
18 N'abaana ba Kokasi: Amulaamu ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri: n'emyaka egy'obulamu bwa Kokasi emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
19 N'abaana ba Merali; Makuli ne Musi. Abo bye bika by'Abaleevi mu mirembe gyabwe.
20 Amulaamu n'awasa Yokebedi muganda wa kitaawe; n'amuzaalira Alooni, ne Musa: n'emyaka egy'obulamu bwa Amulaamu emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
21 N'abaana ba Izukali: Koola, ne Nefega, ne Zikiri.
22 N'abaana ba Wuziyeeri; Misaeri, ne Erizafani, ne Sisiri.
23 Alooni n'awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
24 N'abaana ba Koola: Asira, ne Erukaana, ne Abiyasaafu; abo bye bika by'Abakoola.
25 Eriyazaali omwana wa Alooni, n'awasa mu bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja b'Abaleevi mu bika byabwe.
26 Abo ye Alooni ne Musa bali Mukama be yagamba nti Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri mu ggye lyabwe.
27 Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri okuggya abaana ba Isiraeri mu Misiri: abo ye Musa ne Alooni bali.
28 Awo ku lunaku Mukama lwe yagamba Musa mu nsi y'e Misiri.
29 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti Nze Mukama: ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.
30 Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama nti Laba sikomolebwanga mimwa, Falaawo anampulira atya?