Essuula 4
1 Musa n'addamu n'ayogera nti Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira.
2 Mukama n'amugamba nti Kiki ekiri mu mukono gwo? N'ayogera nti Muggo.
3 N'ayogera nti Gusuule wansi. N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota: Musa n'adduka mu maaso gaagwo.
4 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo: (n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe:)
5 Balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, nti akulabikidde.
6 Mukama n'amugamba nate nti Teeka omukono mu kifuba kyo. N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye: bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga gulina ebigenge ng'omuzira.
7 N'ayogera nti Guzze omukono gwo mu kifuba kyo. (N'aguzza omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba, nga gufuuse ng'omubiri (gwonna).
8 Awo olulituuka bwe batalikukkiriza era bwe bataliwulira ddoboozi lya kabonero ak'olubereberye, balikkiriza eddoboozi ery'akabonero ak'okubiri.
9 Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira ddoboozi lyo, olisena ku mazzi g'omugga n'ofuka ku lukalu: amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu.
10 Musa n'agamba Mukama nti Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw'oyogedde n'omuddu wo: kubanga soogera mangu, n'olulimi lwange luzito.
11 Mukama n'amugamba nti Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w'amatu oba atunula oba muzibe w'amaaso? Si nze Mukama?
12 Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu n'akamwa ko, ndikuyigiriza by'olyogera.
13 N'ayogera nti Ai Mukama, tuma nno, nkwegayiridde, mu mukono gw'oyo gw'oyagala okutuma.
14 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti Alooni Omuleevi muganda wo taliiwo? Mmanyi nti ayinza okwogera obulungi. Era, laba, ajja okukusisinkana: bw'alikulaba, alisanyuka mu mutima gwe.
15 Naawe olimugamba, era oliteeka ebigambo mu kamwa ke: nange ndibeera wamu n'akamwa ko, n'akamwa ke, ndibayigiriza bye mulikola.
16 Naye alibeera mutegeeza wo eri abantu: awo alikubeerera kamwa, naawe olimubeerera nga Katonda.
17 Naawe olitwala omuggo guno mu mukono gwo, gw'olikoza obubonero.
18 Musa n’agenda n'addayo eri Yesero mukoddomi we, n'amugamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzireyo eri baganda bange abali mu Misiri, ndabe nga bakyali balamu. Yesero n'agamba Musa nti Genda n'emirembe.
19 Mukama n'agamba Musa mu Midiyaani nti Genda, oddeyo mu Misiri: kubanga abantu bonna abaali bakunoonya obulamu bwo bafudde.
20 Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo mu nsi y'e Misiri: Musa n'atwala omuggo gwa Katonda mu mukono gwe.
21 Mukama n'agamba Musa nti Bw'oliddayo mu Misiri, tolemanga kukola mu maaso ga Falaawo amagero gonna ge nteese mu mukono gwo: naye ndikakanyaza omutima gwe, talibaleka abantu okugenda.
22 Naawe oligamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri ye mwana wange, omubereberye wange:
23 nange nkugambye nti Leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka: laba, nditta omwana wo, omubereberye wo.
24 Awo (bwe baali nga bakyali) mu kkubo mu kisulo, Mukama n'amusisinkana n'ayagala okumutta.
25 Awo Zipola n'atwala ejjinja ly'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akisuula ku bigerebye; n'ayogera nti Oli baze wa musaayi era omwami w'obugole bw'omusaayi.
26 N'amuleka. N'alyoka ayogera nti Oli baze wa musaayi olw'okukomola.
27 Mukama n'agamba Alooni nti Genda mu ddungu omusisinkane Musa. N'agenda n'amulaba ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera.
28 Musa n'agamba Alooni ebigambo byonna ebya Mukama bye yamutuma, n'obubonero bwonna bwe yamulagira.
29 Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri:
30 Alooni n'ayogera ebigambo byonna Mukama bye yamugamba Musa, n'akola obubonero mu maaso g'abantu.
31 Abantu ne bakkiriza: bwe baawulira nti Mukama yabajjira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.