Chapter 48
1 Era gano ge mannya g'ebika okuva ku nkomerero ey'obukiika obwa kkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba; Ddaani omugabo gumu.
2 N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Aseri omugabo gumu.
3 N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Nafutaali omugabo gumu.
4 N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Manase omugabo gumu.
5 N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Efulayimu omugabo gumu.
6 N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Lewubeeni omugabo gumu.
7 N'awali ensalo ya Lewubeeni, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Yuda omugabo gumu.
8 Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati.
9 Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'obugazi kakumi.
10 N'ekitone ekitukuvu kiriba ky'abo, kya bakabona; eri obukiika obwa kkono obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'eri obugwanjuba obugazi kakumi, n'eri obuvanjuba obugazi kakumi, n'eri obukiika obwa ddyo obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo.
11 Kiriba kya bakabona abatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abataawaba nga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba.
12 Era kiriba gye bali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi.
13 N'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi: obuwanvu bwonna buliba obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi:
14 So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala: kubanga kitukuvu eri Mukama.
15 N'enkumi ettaano ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'obukumi bubiri mu enkumi ttaano ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga: era ekibuga kiriba wakati omwo.
16 Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiika obwa kkono enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obukiika obwa ddyo enkumi nnya mu ebikumi bitaano, ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba, enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu ebikumi bitaano.
17 Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiika obwa kkono ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obukiika obwa ddyo ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obuvanjuba ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obugwanjuba ebikumi bibiri mu ataano.
18 N'obuwanvu obufisseewo obwenkana ekitone ekitukuvu buliba kakumi ebuvanjuba n'akakumi ebugwanjuba: era bulyenkana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biriba bya kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga.
19 N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonna ebya Isiraeri banaakirimanga.
20 Ekitone kyonna kiriba obugazi obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga.
21 N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ttaano obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ettaano okwolekera ensalo ey'ebuvagwanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu aw'ennyumba biriba wakati omwo.
22 Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku bataka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira.
23 N'ebika ebirala; okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Benyamini omugabo gumu.
24 N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwaajuba; Simvoni omugabo gumu.
25 N'awali ensalo ya Simyoni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Isakaali omugabo gumu.
26 N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku Lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Zebbulooni omugabo gumu.
27 N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi o1w'ebugwanjuba; Gaadi omugabo gumu.
28 N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene.
29 Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda.
30 Era wano ekibuga we kikoma; ku lubiriizi olw'obukiika obwa kkono emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa:
31 n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu egitunuulira obukiika obwa kkono: omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu; omulyango gwa Leevi gumu:
32 ne ku lubiriizi olw'ebuvanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano; n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu; omulyango gwa Ddaani gumu:
33 ne ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu; omulyango gwa Zebbulooni gumu:
34 ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu; omulyango gwa Nafutaali gumu.
35 Kiriba kya mmuli kakumi mu kanaana okwetooloola: n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti Mukama ali omwo.