Chapter 6
1 Era ekigambo lya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, osse amaaso ge eri ensozi za Isiraeri, oziragule, oyogere nti
3 Mmwe ensozi za Isiraeri muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, eri ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.
4 N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyeka: eri ndisuula abasajja bammwe abattibwa mu maaso g'ebifaananyi byammwe.
5 Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.
6 Mu bifo byonna mwe mubeera ebibuga birizisibwa, n'ebifo ebigulumivu birirekebwawo: ebyoto byammwe bizisibwe era birekebwewo, n'ebifaananyi byammwe bimenyeke biggweewo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba bitemerwe ddala, n’emirimu gyammwe giggibwewo.
7 Kale abattibwa baligwa wakati mu mmwe, era mulimanya nga nze ndi Mukama.
8 Era naye ndireka ekitundu ekifisseewo, kubanga muliba n'abamu abaliwona ekitala mu mawanga, bwe mulisaasaanyizibwa mu nsi nnyingi.
9 Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa mu basibe, bwe nnamenyeka olw’omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okugoberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw’obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna.
10 Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno.
11 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.
12 Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n’ekitala; n'oyo asigalawo n’azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo.
13 Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti ogwera ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna.
14 Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekesawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama.