Chapter 33
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, yogera n'abaana b'abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi bwe baggyanga omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe:
3 bw'alaba ekitala nga kijja ku nsi, oba nga afuuwa ekkondeere n'alabula abantu;
4 kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe ye.
5 Awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe gunaabanga ku ye: naye singa alabuse yandiwonyezza emmeeme ye.
6 Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gw'omukuumi.
7 Naawe bw'otyo, omwana w'omuntu, nkutaddewo okuba omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo eri akamwa kange, obawenga okulabula okuva gye ndi:
8 Bwe ŋŋambanga omubi nti Ai omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
9 Era naye bw'olabulanga omubi ekkubo lye okukyuka okulivaamu, n'atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.
10 Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale twandibadde tutya abalamu?
11 Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?
12 Naawe, omwana w'omuntu, gamba abaana b'abantu bo nti Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimugwisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe: so n'oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona.
13 Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga talirema kuba mulamu; bw'aneesiganga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira.
14 Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; bw'anaakyukanga okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga;
15 omubi bw'azzangayo omusingo, n'akomyawo ekyo kye yanyaga, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali, butuukirivu bw'akola; talirema kuba mulamu, talifa.
16 Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa eri ye: akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga; talirema kuba mulamu.
17 Era naye abaana b'abantu bo boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana: naye bo ekkubo lyabwe lye litenkanankana.
18 Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, n'okufa alifiira omwo.
19 Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo.
20 Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.
21 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okusibibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano omu eyali awonye mu Yerusaalemi n'ajja gye ndi ng'ayogera nti Ekibuga kikubiddwa.
22 Awo omukono gwa Mukama gwali nga gubadde ku nze akawungeezi, ye awonye nga tannajja; era yali ayasamizza akamwa kange okutuusa lwe yajja gye ndi enkya; akamwa kange ne kayasama, ne ssiba kasiru nate.
23 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
24 Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi: naye ffe tuli bangi; ensi etuweereddwa okuba obusika.
25 Kale obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi?
26 Muyima ku kitala kyammwe, mukola eby'emizizo, ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne: era mulirya ensi?
27 Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli.
28 Era ndifuula ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo, n'amalala ag'obuyima bwayo galikoma; n'ensozi za Isiraeri zirirekebwawo, omuntu yenna aleme okuyitamu.
29 Kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga nfudde ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo olw'emizizo gyabwe gyonna gye bakoze.
30 Naawe, omwana w'omuntu, abaana b'abantu bo bakwogerako awali ebisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, ne bagambagana, buli muntu ng'agamba muganda we nti Mujje, mbeegayiridde, muwulire ekigambo ekivudde eri Mukama.
31 Ne bajja gy'oli ng'abantu bwe bajja, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange ne bawulira ebigambo byange naye ne batabikola: kubanga boolesa okwagala kungi n'akamwa kaabwe, naye omutima gwabwe gugoberera amagoba gaabwe.
32 Era, laba, oli gye bali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola.
33 Awo ebyo bwe birituukirira (laba, bijja), kale ne balyoka bamanya nga nnabbi abadde mu bo.