Chapter 35
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu; simba amaaso go okwolekera olusozi Seyiri; olulagulireko
3 olugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi Seyiri; era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n'ekyewuunyo.
4 Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama.
5 Kubanga wabanga n'obulabe obutaggwaawo, n'owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw'ekitala mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero:
6 kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, amusaayi kyeguliva gukucocca.
7 Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n'amatongo; era ndimalawo okwo oyo ayitamu n'oyo akomawo.
8 Era ndijjuza ensozi zaayo abaayo abattibwa: abattibwa n'ekitala baligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez'amazzi.
9 Ndifukuula amatongo agataliggwaawo, so n'ebibuga byo tebirituulwamu: kale mulimanya nga nze Mukama.
10 Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi biriba byange, naffe tuligirya; naye Mukama yali eyo:
11 kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango.
12 Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya.
13 Era mwanneegulumirizaako n'akamwa kammwe, era munnyongeddeko ebigambo byammwe: nze mpulidde.
14 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ettaka lyonna bwe lirisanyuka, ndikufuula ggwe amatongo.
15 Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri kubanga bwafuulwa amatongo, bwe ntyo bwe ndikukola ggwe: oliba nga ofuuliddwa amatongo, si olusozi Seyiri ne Edomu yonna, yonna bwe yenkana: kale balimanya nga nze Mukama.