Chapter 20
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omusanvu mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja okubuuza Mukama ne batuula mu maaso gange.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
3 Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muzze okumbuuza? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.
4 Onoobasalira, omwana w'omuntu, onoobasalira omusango? Bamanyise emizizo gya bajjajjaabwe;
5 obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, bwe nnayimusa omukono gwange eri bo, nga njogera nti Nze Mukama Katonda wammwe;
6 ku lunaku olwo nayimusa omukono gwange eri bo okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubayingiza mu nsi gye nnali mbakettedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna:
7 ne mbagamba nti Musuule buli muntu emizizo egy'amaaso ge, so temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; Me Mukama Katonda wammwe.
8 Naye ne banjeemera ne batayagala kumpulira; tebaasuula buli muntu emizizo egy'amaaso gaabwe, so tebaaleka bifaananyi bya Misiri: kale ne njogera okubafukako ekiruyi kyange, okutuukiriza obusungu bwange ku bo wakati mu nsi y'e Misiri.
9 Naye nakola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga, mwe baali, be nneetegereza mu maaso gaabwe gye bali, nga mbaggya mu nsi y'e Misiri.
10 Awo ne mbatambuza okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu ddungu.
11 Awo ne mbawa amateeka gange ne mbalaga emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo.
12 Era nate ne mbawa ssabbiiti zange, okuba akabonero wakati wange nabo, balyoke bamanye nga nze Mukama abatukuza.
13 Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; ne ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo.
14 Naye ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe.
15 Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga sigenda kubaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna;
16 kubanga baagaana emisango gyange ne batatambuliranga mu mateeka gange ne boonoonanga ssabbiiti zange: kubanga omutima gwabwe gwagobereranga ebifaananyi byabwe.
17 Era naye eriiso lyange ne libasonyiwa okuzikirizibwa, so saabamalirawo ddala mu ddungu.
18 Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti Temutambuliranga mu mateeka ga bajjajjammwe so temwekuumanga misango gyabwe so temweyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe:
19 nze Mukama Katonda wammwe; mutambulirenga mu mateeka gange, mukwatenga emisango gyange mugikolenga:
20 era mutukuzenga essabbiiti zange; era zinaabanga kabonero wakati wange nammwe, mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.
21 Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; baayonoonanga ssabbiiti zange; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange okutuukiriza obusungu bwange eri bo mu ddungu.
22 Era naye ne nziza omukono gwange ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe.
23 Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbatataaganyiza mu nsi nnyingi;
24 kubanga baali tebatuukirizza misango gyange, naye nga bagaanyi amateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe.
25 Era nate ne mbawa amateeka agatali malungi, n'emisango gye batagenda kubeereramu balamu;
26 ne mbagwagwawaza olw'ebirabo byabwe bo, kubanga baayisanga mu muliro bonna abaggulanda, ndyoke mbamaleko byonna, era bamanye nga nze Mukama.
27 Kale, omwana w'omuntu, yogera n’ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumidde, kubanga bansobyako ekyonoono.
28 Kubanga bwe nnali mbayingizizza mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okubawa, kale ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, era eyo gye baaleeteranga ekiweebwayo kyabwe ekinnyiiza, era eyo gye baanyookerezanga akaloosa kaabwe, ne bafukanga ebiweebwayo byabwe eby’okunywa.
29 Awo ne mbagamba nti Ekifo ekigulumivu gye mugenda amakulu gaakyo ki? Awo erinnya lyakyo ne kituumibwa Bama ne leero.
30 Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mweyonoonyesa ng'engeri bwe yali eya bajjajjammwe? era mwenda okugoberera emizizo gyabwe?
31 era bwe muwaayo ebirabo byammwe, bwe muyisa batabani bammwe mu muliro, mweyonoonyesa n'ebifaananyi byammwe byonna ne leero? kale naabuuzibwa mmwe, ai ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe:
32 n'ekyo ekiyingira mu mwoyo gwammwe tekiribaawo n'akatono; kubanga mwogera nti Tunaaba ng'amawanga, ng'ebika eby'omu nsi, okuweereza emiti n'amayinja.
33 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima ndiba kabaka wammwe n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'ekiruyi ekifukiddwa:
34 era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogugoloddwa n'ekiruyi ekifukiddwa:
35 era ndibaleeta mu ddungu ery'amawanga, era ndiwoleza eyo nammwe nga tutunulagana amaaso n'amaaso.
36 Nga bwe nnawoleza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
37 Era ndibayisa wansi w'omuggo, era ndibayingiza mu busibe bw'endagaano;
38 era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama.
39 Nammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe.
40 Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe balimpeerereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byammwe n'ebibala ebibereberye eby'ebitone byammwe wamu n'ebintu byammwe byonna ebitukuvu.
41 Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga.
42 Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe.
43 Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
44 Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.
45 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
46 Omwana w'omuntu, simba amaaso go obukiika obwa ddyo, otonnyese ekigambo kyo okwolekera obukiika obwa ddyo, olagulire ku kibira eky'ennimiro ey'obukiika obwa ddyo;
47 ogambe ekibira eky'obukiika obwa ddyo nti Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogwera oguli mu ggwe na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro ezaaka tezirizikizibwa, n'amaaso gonna okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono galiggya nagwo.
48 Kale bonna abalina omubiri baliraba nga nze Mukama ngukumye: tegulizikizibwa.
49 Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! banjogerako nti Si mugezi wa ngero?