Chapter 25
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, simba amaaso okwolekera abaana ba Amoni, obalagulireko:
3 ogambe abaana ba Amoni nti Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati bw'ayogera Mukama nti Kubanga wayogera nti Nyeenya, eri awatukuvu wange, bwe wayonooneka; n'eri ensi ya Isiraeri bwe yazisibwa; n'eri ennyumba ya Yuda bwe baagenda mu busibe:
4 laba, kyendiva nkuwaayo eri abaana ab'ebuvanjuba okuba obutaka, kale balisiisira ensiisira zaabwe mu ggwe, ne batuula mu ggwe; balirya ebibala byo, era balinywa amata go.
5 Era ndifuula Labba okuba ng'ekisibo eky'eŋŋamira, n'abaana ba Amoni okuba ng'ekifo embuzi we zigalamira: kale mulimanya nga nze Mukama.
6 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga okubye mu ngalo, n'osamba n'ebigere, n'osanyukira ku nsi ya Isiraeri n'ekyejo kyonna eky'omu mmeeme yo;
7 laba, kyenvudde nkugololerako omukono gwange, era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga; era ndikuzikiriza mu mawanga, ne nkumalamu mu nsi ezo: ndikufaafaaganya; kale olimanya nga nze Mukama.
8 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti Laba, ennyumba ya Yuda efaanana amawanga gonna;
9 laba, kyendiva mbaggulira abaana b'ebuvanjuba oluuyi lwa Mowaabu okuva mu bibuga, okuva mu bibuga bye ebiri ku nsalo ye, ekitiibwa eky'ensi, Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu,
10 okutabaala abaana ba Amoni, era ndibawa okuba obutaka, abaana ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga:
11 era ndituukiriza emisango ku Mowaabu; kale balimanya nga nze Mukama.
12 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Edomu akoze bubi ennyumba ya Yuda ng'awalana eggwanga, era ayonoonye nnyo era yeewalanidde eggwanga ku bo;
13 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne mmumalamu abantu n'ensolo: era ndigizisa okuva e Temani: okutuuka e Dedani baligwa n'ekitala.
14 Era nditeeka eggwanga lyange ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Isiraeri; era balikolera mu Edomu ng'obusungu bwange bwe buli era ng'ekiruyi kyange bwe kiri: kale balimanya okuwalana kwange, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Abafirisuuti bakoze nga bawalana eggwanga, era bawalanye eggwanga emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugizikiriza n'obulabe obutaggwaawo;
16 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndigololera ku Bafirisuuti omukono gwange, era ndimalawo Abakeresi, ne nzikiriza ekitundu ekifisseewo eky'oku ttale ly'ennyanja.
17 Era ndiwalana ku bo eggwanga ekkulu nga mbanenya n'ekiruyi: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibateekako eggwanga lyange.