Chapter 1
1 Mu mwaka ogw'okusatu mu mirembe gya Yekoyakimu kabaka wa Yuda; Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi, n'akizingiza.
2 Mukama n'awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe, era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebimu: n'abitwala mu nsi Sinaali mu ssabo lya katonda we: n'aleeta ebintu mu ggwanika lya katonda we.
3 Kabaka n'agamba Asupenaazi omukulu w'abalaawe be, ayingize ku baana ba Isiraeri, ab'omu zzadde lya kabaka n'ery'abakungu:
4 abavubuka abataaliko bulema, wabula ab'amaaso amalungi, era abategeevu mu magezi gonna, era abakabakaba mu kutegeera, era abaamanya ebiyigirizibwa, era abasaanira okuyimirira mu nnyumba ya kabaka: era abayigirizenga amagezi ag'Abakaludaaya n'olulimi lwabwe.
5 Kabaka n'abalagira omugabo ogwa bulijjo ogw'oku mmere ya kabaka, n'ogw'oku mwenge gwe yanywanga, era babaliisize emyaka esatu: bwe giriggwaako balyoke bayimirire mu maaso ga kabaka.
6 Ne muba mu abo, ku baana ba Yuda, Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya.
7 N'omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza: ne Kananiya n'amutuuma Saddulaaki: ne Misayeri n'amutuuma Mesaki: ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego.
8 Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga n'emmere ya kabaka, newakubadde n'omwenge gwe yanywanga: kyeyava asaba omukulu w'abalaawe aleme okweyonoonyesanga.
9 Ne Katonda n'alabisa Danyeri ekisa n'okusaasirwa mu maaso g'omukulu w'abalaawe.
10 Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga: kubanga kiki ekiriba kimulabya amaaso gammwe nga tegafaanana bulungi ng'abavubuka abenkana nammwe obukulu? Bwe gutyo omutwe gwange gwandirabye akabi eri kabaka.
11 Danyeri n'alyoka agamba omusigire, omukulu w'abalaawe gwe yafuza Danyeri; Kananiya, Misayeri, ne Azaliya: nti
12 Okemere abaddu bo ennaku kkumi, nkwegayiridde: batuwenga ebijanjaalo okulya, n'amazzi okunywa.
13 Amaaso gaffe galyoke gakeberwe w'oli, n'amaaso g'abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka: era nga bw'oliraba, okole bw'otyo eri abaddu bo.
14 Awo n'abawulira mu bigambo ebyo, n'abakemera ennaku kkumi.
15 Awo ennaku ekkumi bwe zaggwa, amaaso gaabwe ne gafaanana bulungi, era baali nga bagezze omubiri, okusinga abavubuka bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka.
16 Awo omusigire n'abaggyako emmere yaabwe, n'omwenge gwe bandinyweddenga, n'abawa ebijanjaalo.
17 Naye abavubuka abo abana, Katonda n'abawa okumanya n'okutegeera mu kuyiga kwonna n'amagezi: Danyeri n'aba omukabakaba mu kwolesebwa kwonna ne mu birooto.
18 Awo ennaku bwe zaggwa, kabaka ze yagamba okubayingiza, omukulu w'abalaawe n'abayingiza mu maaso ga Nebukadduneeza.
19 Kabaka n'anyumya nabo: ne mu abo bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya Misayeri, ne Azaliya: kyebaava bayimirira mu maaso ga kabaka.
20 Ne mu buli kigambo eky'amagezi n'eky'okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi abasawo, n'abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna.
21 Danyeri n'abeerawo okutuusa ku mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka.