Chapter 13
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, lagulira ki bannabbi ba Isiraeri abalagula obagambe abo abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo, nti Muwulire ekigambo kya Mukama;
3 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe bo, so nga tebaliiko kye balabye!
4 Ai Isiaeri, bannabbi bo baabanga ng'ebibe mu bifo ebyalekebwawo.
5 Temwambukanga mu bituli ebyawagulwa, so temuddaabiririzanga nnyumba ya Isiraeri olukomera, muyimirire mu lutalo ku lunaku lwa Mukama.
6 Balabye ebitaliimu n’obulaguzi obw'obulimba abo aboogera nti Mukama ayogera; so nga Mukama tabatumye: era basuubizizza abantu ng'ekigambo kigenda kunywezebwa.
7 Temulabye kwolesebwa okutaliimu, era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti Mukama ayogera: era naye soogeranga?
8 Mukama Katonda kyava ayogera nti Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby'obulimba, kale, laba, ndi mulabe wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
9 Era omukono gwange guliba nulabe wa bannabbi abalaba ebitaliimu ne balagula eby'obulimba: tebaliba mu abo abateesa ab'omu bantu bange, so tebaliwandiikibwa nu kiwandiike eky'ennyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.
10 Kubanga, weewaawo, kubanga basenzesenze abantu bange, nga boogera nti Mirembe; so nga tewali mirembe; era omuntu bw'azimba ekisenge, laba, bakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi:
11 bagambe abo abakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi nga kirigwa: walibaawo enkuba ekulukuta ennyo; nammwe, amayinja ag'omuzira amanene, muligwa; ne kibuyaga omungi alikimenya.
12 Laba, ekisenge bwe kiriba nga kigudde, temuligambibwa nti Okusiigako kwe mwakisiigako kuli ludda wa?
13 Kale bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikimenyera ddala ne kibuyaga mungi nga ndiko ekiruyi; era walibaawo enkuba ekulukuta ennyo nga ndiko obusungu, n'amayinja ag'omuzira amanene okukimalawo.
14 Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi, ne nkissa wansi, omusingi gwakyo n'okweruka ne gweruka: era kirigwa, nammwe mulimalibwawo wakati mu kyo: kale mulimanya nga nze Mukama:
15 Bwe ntyo bwe ndituukiriza ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi; era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako;
16 be bannabbi ba Isiraeri abalagula ebya Yerusaalemi era abakirabira okwolesebwa okw'emirembe, so nga tewali mirembe, bw'ayogera Mukama Katonda.
17 Naawe, omwana w'omuntu, kakasa amaaso go okwolekera abawala b'abantu bo, abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo; era balagulireko
18 oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abakazi abatungira ebigugu ku nkokola zonna, era abakolera ebiwero emitwe gy'abantu aba buli kigera okuyigga obulamu Muliyigga obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa?
19 Era mwanvumisa mu bantu bange olw'embatu eza sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okutta obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby'obulimba.
20 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa bigugu byammwe bye muyizza obulamu eyo okububuusa, era ndibisika okubiggya ku mikono gyammwe; era nditta obulamu, obulamu obwo bwe muyigga okububuusa.
21 Era n'ebiwero byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama.
22 Kubanga muwuubazizza n'eby'obulimba omutima gw'omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy'omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n'awona nga mulamu:
23 kyemuliva mulema okulaba nate ebitaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama.