Chapter 38
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Googi ow'omu nsi ya Magoogi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali, omulagulireko
3 oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali:
4 era ndikuzzaayo, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya n'eggye yo lyonna, embalaasi n'abasajja abeebagadde embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa ebyatuukirira, ekibiina ekinene, nga balina obugabo n'engabo, bonna nga bakutte ebitala:
5 Obuperusi, Kuusi, ne Puti nga bali nabo; bonna nga balina engabo n'enkuffiira:
6 Gomeri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma, mu njuyi ez'ensi ezikomererayo; n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe.
7 Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwe n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe gye bali.
8 Ennaku nnyingi nga ziyiseewo olijjirwa: mu myaka egy'enkomerero olireetebwa mu nsi ekomezebwawo okugiggya nu kitala, ekuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaabanga ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko kye batya, bonna.
9 Kale olyambuka olijja nga kibuyaga, oliba ng'ekire okubikka ku nsi, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga mangi nga gali naawe.
10 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebigambo birijja mu mwoyo gwo, era olisala olukwe olubi:
11 kale olyogera nti Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali babbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi:
12 okunyaga omunyago n'okunyaga omuyiggo; okukyusiza omukono gwo ku bifo eby'ensiko ebituulwamu kaakano, n'abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna.
13 Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, wamu n'empologoma ento zaayo zonna, balikugamba nti Ozze kunyaga munyago? okuŋŋaanyizza ekibiina kyo kunyaga muyiggo? okutwalira ddala effeeza n'ezaabu, okutwalira ddala ensolo n'ebintu, okunyaga omunyago mungi?
14 Kale, omwana w'omuntu, lagula ogambe Googi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya?
15 Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene:
16 era olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire okubikka ku nsi; olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, bwe nditukuzibwa mu ggwe, ai Googi, mu maaso gaabwe.
17 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaalaguliranga emyaka emingi mu nnaku ezo nga ndikusindika okubatabaala bo?
18 Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, ekiruyi kyange kiririnnya mu nnyindo zange.
19 Kubanga njogezezza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene;
20 ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna, ebyewalula ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana balikankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi.
21 Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: ekitala kya buli muntu kirirwana ne muganda we.
22 Era ndiwoza naye ne kawumpuli n'omusaayi; era ndimutonnyesaako ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye oluwandaggirize olwanjaala n'amayinja amanene ag'omuzira n'omuliro n'ekibiriiti.
23 Era ndyegulumiza ne nneetukuza, era ndyemanyisa mu maaso g'amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama.