Chapter 40
1 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano ogw'okusibibwa kwaffe omwaka nga kye gujje gutanule ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ekibuga nga kimaze okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo.
2 N'antwala mu nsi ya Isiraeri mu kwolesebwa kwa Katonda, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ng'embala y'ekibuga ku bukiika obwa ddyo.
3 N'antwalayo, kale, laba, nga waliwo omusajja; enfaanana ye ng'enfaanana ey'ekikomo, ng'alina omugwa ogw'obugoogwa mu mukono gwe n'olumuli olugera; n'ayimirira mu mulyango.
4 Omusajja oyo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke nkubirage: byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri.
5 Awo, laba, ekisenge ebweru w'ennyumba okwetooloola, ne mu mukono gw'omusajja nga mulimu olumuli olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono mukono ko oluta: awo n'agera obugazi bw'ennyumba, olumuli lumu; n'obugulumivu olumuli lumu:
6 Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu.
7 Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, waaliwo olumuli lumu.
8 Era n'agera n'ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, olumuli lumu.
9 Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba.
10 N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi
11 Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono kkumi; n'obuwanvu bw'omulyango emikono kkumi n'esatu;
12 n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi.
13 N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono amakumi abiri mu etaano; oluggi nga lwolekera oluggi.
14 Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga; n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola.
15 N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano.
16 Era amayu gaaliko ebituli ebyazibibwa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko enkindu.
17 Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge n'amayinja amaaliire, ebyakolerwa oluggya okwetooloola: ebisenge amakumi abiri byali ku mayinja ago amaaliire.
18 N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi.
19 Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiika obwa kkono:
20 N'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogutunuulira obukiika obwa kkono n'agera obuwanvu bwagwo n'obugazi bwagwo:
21 N'amayu gaako gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; n'emifuubeeto gyako n'ebizizi byako byali ng'ekigera eky'omulyango ogw'olubereberye: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
22 N'ebituli byagwo n'ebizizi byagwo n'enkindu zaagwo, byali ng'ekigera eky'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era baagulinnyirangamu ku madaala musanvu; n'ebizizi byagwo byali nu maaso gaago.
23 Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiika obwa kkono era n'ebuvanjuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi.
24 Awo n'antwala obukiika obwa ddyo, kale, laba, omulyango obukiika obwa ddyo: n'agera emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe biri.
25 Era kwaliko amadirisa ku gwo ne ku bizizi byagwo enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago: obuwanvu emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
26 Era waaliwo amadaala musanvu kwe baalinnyiranga, n'ebizizi byagwo byali mu maaso gaago: era gwaliko enkindu, olumu eruuyi n'olumu eruuyi ku mifuubeeto gyagwo.
27 Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiika obwa ddyo: n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiika obwa ddyo emikono kikumi.
28 Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiika obwa ddyo ng'ebigera ebyo bwe byali;
29 n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli era n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.
30 Era waaliwo ebizizi enjuyi zonna obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri mu etaano n'obugazi bwabyo emikono etaano.
31 N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyali enkindu; n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
32 N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali;
33 n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli, n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.
34 N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
35 N'antwala ku mulyango ogw'obukiika obwa kkono: n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali;
36 amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.
37 N'emifuubeeto gyagwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifubeeto gyagwo gyaliko enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
38 Era n'enju n'oluggi lwayo yali eriraanye ku mifuubeeto ku miryango; eyo gye baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa.
39 Ne mu kisasi eky'oku mulyango mwalimu emmeeza bbiri eruuyi n'emmeeza bbiri eruuyi okuttirangako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango.
40 Era ku luuyi ebweru ng'olinnya awayingirirwa mu mulyango okwolekera obukiika obwa kkono yaliyo emmeeza bbiri: ne ku luuyi olw'okubiri, lwe lw'ekisasi eky'oku mulyango, yaiiyo emmeeza bbiri.
41 Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka.
42 Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassanga ekiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka:
43 N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone.
44 Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbali g'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: era zaatunuulira obukiika obwa ddyo: nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiika obwa kkono.
45 Awo n'aŋŋamba nti Enju eno etunuulira obukiika obwa ddyo ya bakabona abakuumi b’ennyumba gye balagirwa.
46 N'enju etunuulira obukiika obwa kkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza.
47 N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi n'obugazi bwalwo emikono kikumi okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba.
48 Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi.
49 Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono amakumi abiri n'obugazi emikono kkumi na gumu: ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo: era waaliwo empagi eziriraanye emifubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi.