Chapter 46
1 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulyango ogw'oluggya olw'omunda ogutunuulira obuvanjuba banaaguggalirangawo ennaku omukaaga ezikolerwamu omulimu; naye ku lunaku olwa ssabbiiti banaaguggulangawo, ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka banaaguggulangawo.
2 Era omulangira anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango ogw'ebweru, n'ayimirira awali omufuubeeto ogw'omulyango, ne bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye ebiweebwayo olw'emirembe, n'asinziza awayingirirwa ow'omulyango; kale n'afuluma: naye omulyango tebaguggalangawo okutuusa akawungeezi.
3 N'abantu ab'omu nsi basinzizenga ku luggi olw'omulyango ogwo mu maaso ga Mukama ku ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.
4 N'ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky'anaawangayo eri Mukama kinaabanga ku lunaku olwa ssabbiiti abaana b'endiga mukaaga abataliiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema;
5 n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
6 Ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka kinaabanga ente envubuka eteriiko bulema; n'abaana b'endiga mukaaga n'endiga ennume; zinaabanga ezitaliiko bulema:
7 era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku nte, ne efa ku ndiga ennume, ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga, na buli efa yini ya mafuta.
8 Era omulangira bw'anaayingiranga, anaalingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, era anaavangamu ng'afuluma mu kkubo omwo.
9 Naye abantu ab'omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama mu mbaga ezaalagirwa, oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono okusinza anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo; n'oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: taddirangayo mu kkubo ery'omulyango mwe yayingirira, naye avengamu nga yeesimbye mu maaso ge.
10 N'omulangira, bwe banaayingirangamu, anaagenderanga wakati mu bo; era bwe banaavangamu, banaaviirangamu wamu.
11 Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
12 Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa ssabbiiti: kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.
13 Era otegekanga omwana gw'endiga ogwakamala omwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama buli lunaku: buli nkya ogutegekanga.
14 Era otegekanga wamu nagwo ekiweebwayo eky’obutta buli enkya, ekitundu eky’ekkumi ekya efa n’ekitundu eky’okusatu ekya yini ey’amafuta, okunnyikiza obutta obulungi; ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama eky'olutata olw'ekiragiro ekitaliggwaawo.
15 Bwe batyo bwe baba bategekanga omwana gw'endiga n'ekiweebwayo eky'obutta n'amafuta; buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'olutata.
16 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulangira bw'anaawanga ekirabo mutabani we yenna, nga bwe busika bwe, buliba bwa batabani be; butaka bwabwe olw'obusika.
17 Naye bw'anaawanga ku busika bwe omuddu we yenna ekirabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusika bwe, obwo buliba bwa batabani be.
18 Era nate omulangira tatwalanga ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawanga batabani be obusika ng'abuggya ku butaka bwe ye: abantu bange, balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe.
19 Awo n'ampisa awayingirirwa ku mabbali g'omulyango n'anyingiza mu nju entukuvu eza bakabona ezaatunuulira obukiika obwa kkono era, laba, waaliwo ekifo ku luuyi olw'ennyuma ebugwanjuba.
20 N'aŋŋamba nti Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiweebwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu.
21 Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, n'ampisa ku nsonda ennya ez'oluggya era, laba, mu buli nsonda ey'oluggya nga mulimu oluggya.
22 Mu nsonda ennya ez'oluggya mwalimu empya ezaakomerwa, obuwanvu bwazo emikono amakumi ana n'obugazi amakumi asatu: ezo ennya ezaali mu nsonda zaali za kigera kimu.
23 Era waaliwo olubu oluzimbibwa olwetoolodde mu zo okuzeetooloola ezo ennya, era lwakolebwa nga lulimu ebifo eby'okuufumbiramu wansi w'embu enjuyi zonna.
24 Awo n'aŋŋamba nti Zino ze nnyumba ez'okufumbirangamu, abaweereza ab'ennyumba we banaafumbiranga ssaddaaka ey'abantu.