Chapter 32

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti Wafaananyizibwa empologoma ento ey'omu mawanga: era naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; n'owaguza wamu n'emigga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, n'oyonoona emigga gyago:
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange.
4 Era ndikuleka ku lukalu ne nkusuula ku ttale ebweru, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, naawe ndikukkusa ensolo ez'omu nsi zonna bwe zenkana.
5 Era nditeeka omubiri gwo ku nsozi ne njijuza ebiwonvu obugulumivu bwo.
6 Era ndifukirira ensi gy'owugamu n'omusaayi gwo, okutuuka ne ku nsozi; n'ensalosalo zirikujjula:
7 Awo bwe ndikumalawo, ndibikka ku ggulu ne nfuula emmunyeenye zaamu okubaako ekizikiza; era ndibikka ekire ku njuba, so n'omwezi tegulireeta kwaka kwagwo.
8 Ettabaaza zonna ez'omu ggulu ezaakaayakana ndizireetako ekizikiza waggulu wo, ne nteeka ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda.
9 Era ndyeraliikiriza emitima gy'amawanga amangi, bwe ndituusa okuzikirira kwo mu mawanga, mu nsi z'otomanyanga.
10 Weewaawo, ndikusamaaliririza amawanga mangi, ne bakabaka baabwe balitya nnyo nnyini ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo.
11 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekitala kya kabaka w'e Babulooni kirituuka ku ggwe.
12 Ndigwisa olufulube lwo n'ebitala eby'ab'amaanyi; bonna ba ntiisa ba mu mawanga: era balinyaga amalala ga Misiri, n'olufulube lwayo lwonna lulizikirizibwa.
13 Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; so n'ekigere ky'abantu tekirigatabangula nate, so n'ebinuulo eby'ensolo tebirigatabangula.
14 Kale ne ndyoka ntangaaliza amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Bwe ndirekesaawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ensi eteriimu ebyo bye yajjulanga, bwe ndifumita abo bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama.
16 Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo: balikungubagira Misiri n'olufulube lwamu lwonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
17 Era olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18 Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe olufulube lwa Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya.
19 Osinga ani obulungi? serengeta oteekebwe wamu n'abatali bakomole:
20 Baligwa wakati mu abo abattibwa n'ekitala: aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'olufulube lwe lwonna.
21 Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati, mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala.
22 Asuli ali eyo n'ekibiina kye kyonna; amalaalo ge gamwetoolodde: bonna battiddwa, bagudde n'ekitala:
23 amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge: bonna batiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu.
24 Eriyo Eramu n'olufulube lwe lwonna nga beetoolodde amalaalo ge: bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.
25 Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bantu si bakomole, abattiddwa n'ekitala kubanga entiisa yaabwe yaleetebwa nga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya: ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.
26 Eriyo Meseki; Tubali, n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu.
27 So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu.
28 Naye olimenyekera wakati mu batali bakomole, era oligalamira wamu n'abo abattiddwa n'ekitala.
29 Eriyo Edomu, bakabaka be n'abakungu be, abateekeddwa mu maanyi gaabwe awamu n'abo abattiddwa n'ekitala: baligalamira n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya.
30 Eriyo abalangira ab'obukiika obwa kkono, bonna, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.
31 Falaawo alibalaba, n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda.
32 Kubanga ntadde entiisa ye mu nsi ey'abalamu: era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ye Falaawo n'olufulube lwe lwonna, bw'ayogera Mukama Katonda.