Chapter 43
1 Awo oluvannyuma n'antwala eri omulyango, omulyango ogwo ogutunuulira obuvanjuba:
2 kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba: n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi: ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.
3 Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe nnajja okuzikiriza ekibuga: era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: awo ne nvuunama amaaso gange.
4 Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nnyumba nga kifuluma mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba.
5 Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
6 Awo ne mpulira ayogera nange ng'ayima mu nnyumba; omusajja n'ayimirira ku mabbali gange.
7 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu;
8 nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere n'ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola: kyennava mbamalawo n'obusungu bwange.
9 Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
10 Ggwe omwana w'omuntu, laga ennyumba ya Isiraeri ennyumba, bakwatirwe ensonyi obutali butuukirivu bwabwe: era bagere ekyokulabirako.
11 Awo bwe banaakwatirwa ensonyi ebyo byonna bye bakoze, bategeeze ennyumba bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'embala zaayo zonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba: balyoke bagikwate yonna: nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga.
12 Lino lye tteeka ery'ennyumba: ku ntikko y'olusozi embibi yaayo yonna enjuyi zonna eriba ntukuvu nnyo. Laba, eryo lye tteeka ery'ennyumba.
13 Era kuno kwe kugerebwa kw'ekyoto ng'emikono bwe gyenkana: (omukono gwe mukono ko oluta:) entobo eriba ya mukono gumu, n'obugazi mukono gumu, n'omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa luta: era eyo ye eneeba entobo y'ekyoto.
14 N'okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi waliba emikono ebiri n'obugazi omukono gumu; n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene waliba emikono ena n'obugazi omukono gumu.
15 N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena: n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana.
16 N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri obuwanvu n'ekkumi n'ebiri obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana.
17 N'omugo guliba emikono kkumi n'ena obuwanvu n'ekkumi n'ena obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira obuvanjuba.
18 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo, okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi.
19 Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente enwbuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda.
20 Era olitoola ku musaayi gwayo n'oguteeka ku mayembe gaakyo ana ne ku nsonda ennya ez'omugo ne ku mugo ogwetooloola; bw'otyo bw'onookirongoosanga n'okitangirira.
21 Era otwalanga ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agyokera mu kifo eky'ennyumba ekyalagirwa ebweru w'awatukuvu.
22 Awo ku lunaku olw'okubiri n'owangayo embuzi ennume eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ne balongoosa ekyoto nga bwe bakirongoosa n'ente.
23 Bw'olimala okukirongoosa, owangayo ente envubuka eteriiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.
24 N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne babisuulako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
25 Mu nnaku omusanvu onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi era bategekenga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.
26 Ennaku musanvu batangirirenga ekyoto bakirongoose; bwe batyo bwe baba bakyawula:
27 Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.
s