Chapter 9
1 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri;
2 n'agamba Alooni nti Weetwalire ennyana ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ezitaliiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama.
3 Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
4 n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira.
5 Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.
6 Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.
7 Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.
8 Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe.
9 Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto,
10 naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera kn kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa.
11 N'ennyama n'eddiba n'ayokera n'omuliro ebweru w'olusiisira.
12 N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.
13 Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, ebitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto.
14 N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
15 N'aleeta ekitone eky'abantu, n'addira embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi ekyali ku bw'abantu, n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga n'eyolubereberye.
16 N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali.
17 N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako okujjuza olubatu lwe, n'agyokera ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya.
18 Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna,
19 n'amasavu g'ente: ne ku ndiga omukira ogwa ssava, n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba:
20 amasavu ne bagateeka ku bifuba n'ayokera amasavu ku kyoto:
21 n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; nga Musa bw'alagidde.
22 Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiI weebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.
23 Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
24 Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe.