Chapter 10
1 Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga.
2 Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ga Mukama.
3 Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira.
4 Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kojja wa Alooni, n'abagamba nti Musembere, musitule baganda bammwe okubaggya mu maaso g'awatukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira.
5 Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde.
6 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza.
7 So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.
8 Mukama n'agamba Alooni nti
9 Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, ggwe newakubadde abaana bo awamu naawe, bwe munaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: linaabanga tteeka eritajjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna
10 era mulyoke mwawulengamu ebitukuvu n'ebitali bitukuvu, n'ebirongoofu n'ebitali birongoofu;
11 era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulirira mu mukono gwa Musa.
12 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali abaana be abaasigalawo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, mugiriire awatali kizimbulukusa ku mabbali g'ekyoto: kubanga kye kitukuvu ennyo:
13 era munaagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga lye bbanja lyo, era bbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
14 N'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa munaabiriira mu kifo ekirongoofu; ggwe ne batabani bo ne bawala bo awamu naawe: kubanga biweebwa gy'oli okuba ebbanja lyo, era ebbanja ly'abaana bo, ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.
15 Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: era binaabanga bibyo, era bya baana bo awamu naawe, okuba ebbanja emirembe gyonna; nga Mukama bwe yalagira.
16 Musa n'anoonyeza ddala embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era, laba, ng'eyokeddwa: n'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti
17 Ekibalobedde okuliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu manso ga Mukama?
18 Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; temwandiremye kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagidde.
19 Awo Alooni n'agamba Musa nti Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era bimbaddeko ebigambo ebyenkanidde wano: era singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?
20 Kale Musa bwe yawulira, n'ekiba kirungi nnyo mu maaso ge.