Ebyabaleevi

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27


Chapter 22

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba Alooni ne batabani be, beewalenga ebintu ebitukuvu eby'abaana ba Isiraeri, bye batukuza gye ndi, era balemenga okuvumisa erinnya lyange ettukuvu: nze Mukama.
3 Bagambe nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye batukuza eri Mukama, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu maaso gange: nze Mukama.
4 Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni aliko ebigenge oba alina enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw'aliba omulongoofu. Era buli anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu olw'abafu, oba omuntu avaamu amaanyi;
5 oba buli anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, obutali bulongoofu bwonna bwaliko;
6 obulamu obwo obunaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'anaabye omubiri gwe mu mazzi.
7 Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga gwe mugaati gwe.
8 Ekinaafanga kyokka, oba ekinaataagulwataagulwanga ensolo, talyangako okweyonoona nakyo: nze Mukama.
9 Kyebanaavanga beekuuma kye nnabateresa, balemenga okubaako ekibi olw'ekyo, ne bafiira mu kyo bwe banaakivumisanga: nze ndi Mukama abatukuza.
10 Tewabangawo mugenyi anaalyanga ku kintu ekitukuvu: omuyise ali ne kabona, oba omusenze akolera empeera, talyanga ku kintu ekitukuvu.
11 Naye kabona bw'anaagulanga obulamu bwonna, agulibwa n'ebintu bye, oyo anaalyangako; n'abo abazaalirwa mu nnyumba ye, abo banaalyanga ku mugaati gwe.
12 Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omugenyi, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu.
13 Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga mu buto bwe, anaalyanga ku mugaati gwa kitaawe: naye tewabangawo mugenyi anaalyanga ku gwo.
14 Era omuntu bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tamanyiridde, kale anaakigattangako ekitundu kyakyo eky'okutaano, n'awa kabona ekintu ekitukuvu.
15 So tebavumisanga bintu bitukuvu bya baana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama;
16 ne babaleetako (bwe batyo) obutali butuukirivu obuleeta omusango, bwe balya ku bintu byabwe ebitukuvu: kubanga nze ndi Mukama abatukuza.
17 Mukama n'agamba Musa nti
18 Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti Buli muntu yenna ow'oku nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone lye, bwe kinaabanga obweyamo bwabwe bwonna, oba ekiweebwayo kyonna kye bawaayo ku bwabwe, kye bawaayo eri Mukama okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
19 (munaawangayo) ennume eteriiko bulema ku nte, ku ndiga, oba ku mbuzi, mulyoke mukkirizibwe.
20 Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo: kubanga tekiibenga kya kukkirizibwa ku lwammwe.
21 Era buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba okuba ky'awaayo ku bubwe, ku nte oba ku mbuzi, eneebanga ntuukirivu eryoke ekkirizibwe; tebangako bulema.
22 Enzibe y'amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, so temubifuulanga ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama ku kyoto.
23 Oba ente oba omwana gw'endiga eriko ekintu kyonna ekisukkirira oba ekitatuuka mu bitundu byayo, eyo oyinza okuwaayo okuba ky'owaayo ku bubwo: naye okuba obweyamo tekkirizibwenga.
24 Eyabetentebwa enjagi zaayo, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ezo, temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe.
25 So ne mu mukono gwa munnaggwanga temuwangayo mugaati gwa Katonda wammwe ogugendera ku ezo zonna; kubanga okwonooneka kwazo kuli mu zo, ziriko obulema: tezikkirizibwenga ku lwammwe.
26 Mukama n'agamba Musa nti
27 Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okukirawo enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
28 Era bw'eba ente oba ndiga, temugittanga yo n'omwana waayo byombi ku lunaku lumu.
29 Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.
30 Eneeriirwanga ku lunaku olwo; temugisigazangako okutuusa enkya: nze Mukama.
31 Kyemunaavanga mwekuuma ebiragiro byange, ne mubikola: nze Mukama.
32 So temuvumisanga linnya lyange ttukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri: nze Mukama abatukuza,
33 eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: nze Mukama.