Chapter 5
1 Era oba ng'omuntu yenna ayonoona, ng'awulira eddoboozi ery'okulayiza, oba nga mujulirwa, oba nga yalaba oba nga yamanya, bw'ataakyogerenga, kale anaabangako obubi bwe:
2 era oba ng'omuntu yenna akoma ku kintu ekitali kirongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nsiko eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nnyumba eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ebyewalula ebitali birongoofu, naye ng'akwekeddwa; n'aba atali mulongoofu, kale ng'aliko omusango:
3 era oba ng'akoma ku butali bulongoofu bw'omuntu bwonna bwonna obumufuula atali mulongoofu, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango:
4 era oba ng'omuntu yenna alayira mangu n'emimwa gye okukola obubi, oba okukola obulungi, ekintu kyonna omuntu ky'anaayogeranga amangu n'ekirayiro, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango mu kimu ku bigambo ebyo:
5 awo olulituuka bw'anaabangako omusango mu kimu ku ebyo, kale anaayatulanga ekigambo kye yayonoona:
6 awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, enkazi ey'omu kisibo, omwana gw'endiga oba mbuzi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye.
7 Era oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga eri Mukama okuba ekyo ky'awaayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonye, bukamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; akamu ka kiweebwayo kya kibi, ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa.
8 Awo anaabuleetanga eri kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi, n'anyoola omutwe gwako ku bulago bwako, naye n'atakasalamu:
9 awo anaamansiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto; n'omusaayi gwonna ogusigaddewo gunaatonnyezebwanga ku ntobo y'ekyoto: kye kiweebwayo olw'ekibi.
10 Era anaawangayo ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ng'ekiragiro bwe kiri: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.
11 Naye oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza bukaamukuukulu bubiri, newakubadde amayiba amato abiri, kale anaaleetanga okuba ekitone kye olw'ekigambo ky'ayonoonye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; tateekangako mafuta, so tateekangako mugavu: kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi.
12 Awo anaabuleetanga eri kabona, kabona n'abutoolako olubatu lwe okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kye kiweebwayo olw'ekibi.
13 Ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga: n'ekitundu ekinaafikkangawo kinaabanga kya kabona, ng'ekiweebwayo eky'obutta.
14 Mukama n'agamba Musa nti
15 Omuntu yenna bw'asobyanga, n'ayonoona nga tamanyiridde mu bigambo ebitukuvu ebya Mukama; kale anaaleetanga eri Mukama ekyo ky'awaayo olw'omusango, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosaliranga ffeeza mu sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, okuba ekiweebwayo, olw'omusango:
16 era anaagattanga olw'ekigambo ky'asobezza mu kigambo ekitukuvu era anaakyongerangako ekitundu eky'ekkumi, n'akiwa kabona: ne kabona anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango, naye anaasonyiyibwanga.
17 Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga; newakubadde nga yali takimanyi, naye ng'aliko omusango, era anaabangako obubi bwe.
18 Awo anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'onoosalanga, okuba ekiweebwayo olw'omusango n'agireeta eri kabona: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekigambo kye yasobya nga tamanyiridde n'atakitegeera, naye anaasonyiyibwanga.
19 Kye kiweebwayo olw'omusango: mazima ng'aliko omusango mu maaso ga Mukama.