Chapter 26
1 Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
2 Mwekuumanga ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: nze Mukama.
3 Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola;
4 kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
5 N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe.
6 Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n'ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe.
7 Nammwe munaagobanga abalabe bammwe, era bannagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.
8 Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n'abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.
9 Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe.
10 Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby'edda olw'ebiggya.
11 Era naateekanga ennyumba yange mu mmwe: n'obulamu bwange tebuubakyawenga.
12 Era naatambuliranga mu mmwe ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.
13 Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era mmenye ebisiba eby'ekikoligo kyammwe, ne mbatambuza nga mwesimbye.
14 Naye bwe mutampulirenga ne mutakola biragiro bino byonna:
15 era bwe munaagaananga amateeka gange, n'obulamu bwammwe bwe bunaakyawanga emisango gyange, n'obutakola ne mutakolznga biragiro byange byonna, naye ne muleka endagaano yange:
16 nange naabakolanga bwe nti; naalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, akakono n'omusujja, ebinaamalangamu amaaso, ne bikoozimbya obulamu: era munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga.
17 Era naaboolekezanga amaaso gange, nammwe munaakubibwanga mu maaso g'abalabe bammwe: ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali agoba.
18 Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw'ebibi byammwe.
19 Era naamenyanga amalala ag'obuyinza bwammwe; era naafuulanga eggulu lyammwe okuba ng'ekyuma, n'ettaka lyammwe okuba ng'ekikomo:
20 n'amaanyi gammwe ganaagenderanga busa: kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.
21 Era bwe munaatambuliranga mu kuyomba nange, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga.
22 Era naasindikanga mu mmwe ensolo ey'omu nsiko, eneebanyagangako abaana bammwe, era eneezikirizanga ebisibo byammwe, era eneebakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga:
23 Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange;
24 kale nange naatambuliranga mu kuyomba nammwe; era naabakubanga emirundi musanvu, nze mwene, olw'ebibi byammwe.
25 Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery'endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw'omulabe.
26 Bwe nnaamenyanga omuggo gwammwe ogw'omugaati, abakazi kkumi banaayokeranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu, era banazzanga nate emigaati gyammwe nga bagipimye mu minzani: era munaalyanga ne mutakutta.
27 Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange;
28 kale naatambuliranga mu kuyomba nammwe mu kiruyi; era naababonerezanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
29 Era munaalyanga ennyama ya batabani bammwe, n'ennyama ya bawala bammwe gye munaalyanga.
30 Era naazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba, ne nsuula emirambo gyammwe ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe; n'obulamu bwange bunaabakyawanga.
31 Era naazisanga ebibuga byammwe, era naafuulanga awatukuvu wammwe malungu, so siiwulirenga lusu lw'akaloosa kammwe.
32 Era naafuulanga ensi ddungu: n'abalabe bammwe abagituulamu banaagyewuunyanga.
33 Nammwe naabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera: n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga.
34 Awo ensi n'eryokanga esanyukira ssabbiiti zaayo, ennaku zonna z'eneezikiranga nammwe nga muli mu nsi y'abalabe bammwe; awo ensi n'eryokanga ewummula n'esanyukira ssabbiiti zaayo.
35 Ennaku zonna z'eneezikiranga eneewummulanga; okuwummula okwo kw'etabanga nakwo ku ssabbiiti zammwe nga mukyalimu.
36 N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, naasindikanga obutabaamu mwoyo mu mutima gwabwe mu nsi z'abalabe baabwe: n'eddoboozi ly'akasubi akamenyeka linaabagobanga; era banaddukanga ng'omuntu bw'adduka ekitala; era banaagwanga nga tewali agoba.
37 Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka ekitala, nga tewali agoba: so temuubenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe.
38 Era munaazikiriranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga.
39 N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi z'abalabe bammwe; era ne mu butali butuukirivu bwa bajjajja baabwe mwe banaakoozimbiranga wamu nabo.
40 Era banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n'obutali bu tuukirivu bwa bajjajja baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyako, era nga tebaatambula nange,
41 era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe;
42 awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo; era n'endagaano gye nnalagaana ne Isaaka, era n'endagaano yange gye nnalagaana ne Ibulayimu naagijjukiranga: era najjukiranga ensi.
43 Era ensi banaagirekanga, n'esanyukira ssabbiiti zaayo, ng'ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange.
44 Era naye ebyo byonna nga bimaze okubaawo, bwe banaabanga nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, siibagaanenga, so siibakyawenga, okubazikiririza ddala, n'okuleka endagaano yange gye nnalagaana nabo: kubanga nze Mukama Katonda waabwe:
45 naye najjukiranga ku lwabwe endagaano ya bajjajja baabwe, be nnaggya mu nsi y'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: nze Mukama.
46 Ago ge mateeka n'emisango n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi n'omukono gwa Musa.