Chapter 14
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: anaaleetebwanga eri kabona:
3 awo kabona anaafulumanga mu lusiisira; kabona n'akebera, kale, laba, endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye ku mugenge;
4 kale kabona anaalagiranga okutwalira oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi bbiri ennongoofu ennamu, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu:
5 awo kabona anaalagiranga okuttako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta:
6 n'ennyonyi ennamu anaagiddiranga n'omuti omwerezi n'olugoye olumyufu n'ezobu, n'annyika ebyo n'ennyonyi ennamu mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa ku mazzi agakulukuta:
7 awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga.
8 N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu: oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
9 Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omusanvu, anaamwanga enviiri ze zonna okuziggya ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enviiri ze zonna anaazimwanga: era anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu.
10 Awo ku lunaku olw'omunaana anaddiranga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi ogumu ogwakamaze omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta.
11 Ne kabona amulongoosa anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
12 awo kabona anaddirangako gumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango n’ekibya eky’amafuta, n’abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
13 anattirwanga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: ekyo kitukuvu nnyo;
14 kale kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo:
15 kale kabona anaddiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu kibatu eky'omukono gwe ye ogwa kkono:
16 awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso ga Mukama:
17 ne ku mafuta agasigalawo agali mu mukono gwe kabona anaagateekanga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango:
18 n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa: era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama.
19 Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa:
20 era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto: era kabona anaamutangiriranga, kale anaabanga mulongoofu.
21 Era bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;
22 ne bakaamukuukulu babiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okufuna; erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
23 Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama.
24 Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa:
25 n'atta omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo:
26 awo kabona anaafukanga ku mafuta mu kibatu ky'omukono gwe ye ogwa kkono:
27 kabona n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama:
28 kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe n'agateeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, mu kifo eky'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango:
29 n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, akumutangirira mu maaso ga Mukama.
30 Era anaawangayo ku bakaamukuukulu omu, oba ku mayiba amato limu, nga bw'anaayinzanga okufuna;
31 nga bw'anaayinzanga okufuna, erimu lya kiweebwayo otw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta: era kabana anaatangiriranga oyo agenda okulongoosebwa mu maaso ga Mukama.
32 Eryo lye tteeka ly'oyo aliko endwadde y'ebigenge, atayinza kufuna bya kulongoosebwa kwe.
33 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
34 Bwe muliba nga mutuuse mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwammwe;
35 awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti Ennyumba efaanana gye ndi okubaamu endwadde:
36 kale kabona anaalagiranga okumalamu ebintu mu nnyumba, kabona nga tannaba kuyingira kulaba ndwadde, byonna ebiri mu nnyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba:
37 kale anaakeberanga endwadde, era, laba, endwadde bw'eneebanga ku bisenge by'ennyumba nga byewummuddewummudde, enguudo oba nga za nnawaadagala oba mmyufumyufu, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye munda w'ekisenge;
38 awo kabona anaafulumanga mu nnyumba n'agenda ku mulyango gw'ennyumba, n'aggalira ennyumba ennaku musanvu:
39 kale kabona anaakomangawo ku lunaku olw'omusanvu, n'akebera: era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba;
40 kale kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga:
41 era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokota ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu;
42 ne baddira amayinja amalala, ne bagateeka mu kifo ky'amayinja ago; n'addira ennoni endala, n'agisiiga ku nnyumba.
43 Awo endwadde bw'eneekomangawo n'efuutuuka ku nnyumba, ng'amaze okuggyamu amayinja, era ng'amaze okukolokota ennyumba, era ng'emaze okusiigibwako;
44 kale kabona anaayingiranga n'akebera, era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku nnyumba, ebyo nga bye bigenge ebirya mu nnyumba: nga si nnongoofu.
45 Awo anaayabyanga ennyumba, amayinja gaayo, n'emiti gyayo, n'ennoni yonna ey'ennyumba; era anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu.
46 Era nate buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera kyonna ng'ekyali nzigale anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47 Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze.
48 Era kabona bw'anaayingiranga, n'akebera, era, laba, endwadde nga tebunye ku nnyumba, ennyumba ng'emaze okusiigibwako; kale kabona anaayatuliranga ennyumba nga nnongoofu, kubanga endwadde ng'ewonye.
49 Awo anaddiranga olw'okulongoosa ennyumba ennyoayi bbiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu:
50 n'attako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta:
51 n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu n'ennyonyi ennamu, n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa, ne mu mazzi ago agakulukuta, n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu:
52 era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi ago agakulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu:
53 naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga okuva mu kibuga: bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba: awo eneebanga nnongoofu.
54 Eryo lye tteeka ly'engeri yonna ey'endwadde y'ebigenge, era ery'ekikakampa;
55 era ery'ebigenge eby'okukyambalo, era ery'ennyumba;
56 era ery'ekizimba, era ery'ekikuta, era ery'embalabe erungudde:
57 okuyigirizanga bwe kinaabanga ekitali kirongoofu, era bwe kinaabanga ekirongoofu: eryo lye tteeka ly'ebigenge.