Chapter 23
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Embaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu, zino ze mbaga zange endagire.
3 Ennaku omukaaga zinaakolerwangako omulimu: naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombekerako, okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna: olwo ssabbiiti eri Mukama mu nnyumba zammwe zonna.
4 Zino ze mbaga endagire eza Mukama, kwe kukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo endagire.
5 Mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, kwe Kuyitako kwa Mukama.
6 Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eri Mukama: munaaliiranga ennaku musanvu emigaati egitazimbulukuswa.
7 Ku lunaku olw'olubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
8 Naye munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; te mukolanga mulimu gwa mikono.
9 Mukama n'agamba Musa nti
10 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, ne mulyokanga muleeta ekinywa eky'ebibereberye eby'ebikungulwa byammwe eri kabona:
11 naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, okukkirizibwa ku lwammwe: ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti kabona kw'anaakiwuubirawuubiranga.
12 Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
13 N'ekiweebwayo kyako eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama okuba evvumbe eddungi: n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa kinaabanga kya nvinnyo, ekitundu eky'okuna ekya ini.
14 So temulyanga mugaati newakubadde eŋŋaano ensiike newakubadde ebirimba ebibisi, okutuusa olunaku olwo, okutuusa lwe munaamalanga okuleeta ekitone kya Katonda wammwe: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.
15 Era muneebaliranga okuva ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti, okuva ku lunaku kwe mwaleetera ekinywa eky'ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa; wanaabangawo ssabbiiti musanvu ennamba:
16 okutuusa olw'enkya oluddirira ssabbiiti ey'omusanvu munaabalanga ennaku ataano: awo munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama.
17 Munaafulumyanga mu nnyumba zammwe emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu ebibiri eby'ekkumi ebya efa: ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama.
18 Era munaaleetanga wamu n'emigaati abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema abatannamala mwaka gumu, n'ente ento emu, n'endiga ennume bbiri: zinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
19 Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'abaana b'endiga abalume babiri abatannamala mwaka gumu okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
20 Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi: binaabanga bitukuvu eri Mukama bya kabona.
21 Era munaalangiranga ku lunaku olwo; wanaabangawo okukuŋŋana okutukuvu gye muli: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lye tteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna mu mirembe gyammwe gyonna.
22 Era bwe munaakungulanga ebikungulwa eby'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tolondanga ebyerebwa eby'ebikungulwa byo: onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.
23 Mukama n'agamba Musa nti
24 Gamba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka gye muli, ekijjukizo eky'okufuuwa amakondeere, okukuŋŋaana okutukuvu.
25 Temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
26 Mukama n'agamba Musa nti
27 Naye ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu lwe lunaku olw'okutangiririrako: lunaabanga kukuŋŋaana kutukuvu gye muli, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe; era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
28 So temukolanga mulimu gwonna ku luaaku olwo: kubanga lwe lunaku olw'okutangiririrako, okubatangirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
29 Kubanga buli bulamu bwonna obutaabonerezebwenga ku lunaku olwo, anaazikirizibwanga mu bantu be.
30 Era buli bulamu bwonna obunaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo, obulamu obwo naabuzikirizanga mu bantu be.
31 Temukolanga mulimu gwonna: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.
32 Lunaabanga gye muli ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe: ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi akawungeezi, okusooka akawungeezi okutuusa akawungeezi, muneekuumanga ssabbiiti yammwe.
33 Mukama n’agamba Musa nti
34 Gamba abaana ba Isiraeri nti Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu eri Mukama.
35 Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
36 Munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; nammwe munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kwe kukuŋŋaana okukulu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
37 Ezo ze mbaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu okuwangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, kinnakimu ku lunaku lwakyo:
38 obutassaako ssabbiiti za Mukama, n'ebirabo byammwe, n'obweyamo bwammwe bwonna, n'ebyo byonna bye muwaayo ku bwammwe, bye muwa Mukama.
39 Naye ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga ok'ukungula ebibala by'ensi, muneekuumiranga embaga ya Mukama ennaku musanvu: ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka.
40 Era ku lunaku olw'olubereberye muneetwaliranga ebibala by'emiti emirungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, n'emiti egy'oku migga; era munaasanyukiranga ennaku musanvu mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
41 Era munaagyekuumiranga okuba embaga eri Mukama ennaku musanvu buli mwaka: lye tteka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe: munaagyekuumiranga mu mwezi ogw'omusanvu.
42 Munaamalanga ennaku musanvu mu nsiisira: enzaalwa bonna ab'omu Isiraeri banaatuulanga mu nsiisira:
43 emirembe gyammwe giryoke gimanyenga nga natuuza abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.
44 Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga endagire eza Mukama.