Ebyabaleevi

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27


Chapter 7

1 Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: kye kitukuvu ennyo.
2 Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango: n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku kyoto enjuyi zonna.
3 Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda
4 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana n'ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako:
5 awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango.
6 Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu: kye kitukuvu ennyo.
7 Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: etteeka lyabyo limu: kabona annakitangirizanga y'anaabanga nakyo.
8 Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, kabona oyo y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo.
9 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.
10 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonna banaabanga nakyo, buli muntu okwenkana ne munne.
11 Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'anaawangayo eri Mukama
12 Oba ng'agiwaayo olw'okwebaza, kale anaaweerangayo wa mu ne ssaddaaka ey'okwebaza emigaati egitazimbulukuswa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta, n'emigaati egitabudwamu amafuta, egy'obutta obulungi obunnyikidde.
13 Awamu n'emigaati egizimbulukuswa bw'anaawangayo ky'awaayo wamu ne ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe olw'okwebaza.
14 Era ku yo anaawangayo gumu ku buli kitone okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.
15 Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.
16 Naye oba nga ssaddaaka gy'awaayo bweyamo, oba gy'awaayo ku bubwe, enerriibwanga ku lunaku lw'aweerako saddaaka ye: n'enkya ekinaafikkangako kinaaliibwanga;
17 naye ekinaafikkanga ku nnyama eya ssaddaaka ku lunaku olw'okusatu kinaayokebwanga n'omuliro.
18 Era oba ng'ennyama yonna eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eneeiibwanga ku lunaku olw'okusatu, tekkirizibwenga, so teemubalirwenga oyo agiwaayo: eneebanga ya muzizo, n'omwoyo ogunaagiryangako gunaabangako obubi bwe.
19 Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwanga; eneeyokebwanga n'omuliro. N'ennyama eyo, buli mulongoofu anaagiryangako:
20 naye omwoyo ogunaalyanga ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
21 Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nnongoofu, oba eky'omuzizo kyonna ekitali kirongoofu, n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
22 Mukama n'agamba Musa nti
23 Gamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku masavu, ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi.
24 N'amasavu g'eyo efa yokka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo ganaabanga ga mirimu mirala gyonna: naye okulya temugalyangako n'akatono,
25 Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, omwoyo ogwo ogunaagalyangako gunaazikirizibwanga mu bantu be.
26 So temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, bwe guba ogw'ennyonyi newakubadde ogw'ensolo, mu nnyumba zammwe zonna.
27 Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
28 Mukama n'agamba Musa nti
29 Gamba abaana ba Isiraeri nti Awaayo ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekitone kye eri Mukama ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe:
30 engalo ze yennyini zinaaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; amasavu n'ekifuba anaabireetanga, ekifuba kiwuubibwewuubibwenga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
31 Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto: naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be.
32 N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe.
33 Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaabanga n'ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.
34 Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nziye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okuba ebbanja emirembe gyonna eri abaana ba Isiraeri.
35 Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, ku lunaku lwe yabaleeterako okuweereza Mukama mu bwakabona;
36 Mukama gwe yalagira okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukirako amafuta. Linaabanga bbanja ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
37 Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango; n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe;
38 Mukama lye yalagira Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagirira abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu ddungu lya Sinaayi.