Chapter 20
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki: talemanga kuttibwa: abantu ab'omu nsi banaamukubanga amayinja.
3 Era nange naamwolekezanga amaaso gange omuntu oyo, ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, okwonoona awatukuvu wange, n'okuvumisa erinnya lyange ettukuvu.
4 Era abantu ab'omu nsi bwe banaakisanga n'akatono amaaso gaabwe omuntu oyo, bw'anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, ne batamutta:
5 awo naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne baganda be, ne mmuzikiriza ye n'abo bonna abamugoberera okwenda, okwenda ne Moleki, okubaggya mu bantu baabwe.
6 N'omuntu anaakyukiranga abo abasamira emizimu, n'abalogo, okubagoberera okwenda, naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be.
7 Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
8 Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: nze Mukama abatukuza.
9 Kubanga buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa: ng'akolimidde kitaawe oba nnyina; omusaayi gwe gunaabanga ku ye.
10 N'omuntu anaayendanga ku mukazi w'omusajja omulala, anaayendanga ku mukazi wa muliraanwa we, omwenzi omusajja n'omwenzi omukazi tebalemanga kuttibwa.
11 N'omusajja anaasulanga ne mukazi wa kitaawe, ng'abikudde ku nsonyi za kitaawe: bombi tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
12 Era omusajja bw'anaasulanga ne muka mwana we, bombi tebalemanga kuttibwa: nga bakoze okutabula; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
13 Era omusajja bw'anaasulanga n'omusajja, nga bwe yandyebase n'abakazi, bombi nga bakoze eky'omuzizo: tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
14 Era omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kibi: banaayokebwanga omuliro ye nabo; muleme okuba ekibi mu mmwe.
15 Era omusajja bw'anaasulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa: era munattanga ensolo eyo.
16 Era omukazi bw'anaasembereranga ensolo yonna, n'agalamira nayo, omuttanga omukazi oyo n'ensolo: tebiremanga kuttibwa; omusaayi gwabyo gunaabanga ku byo.
17 Era omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina, n’alaba ensonyi ze, naye n'alaba ensonyi ze; kye kigambo eky'obuwemu; era banaazikirizibwanga mu maaso g'abaana b'abantu baabwe: ng'abikudde ku nsonyi za mwannyina; anaabangako obutali butuukirivu bwe.
18 Era omusajja bw'anaasulanga n'omukazi aliko endwadde ye, n'abikkula ku nsonyi ze; ng'afudde obwereere ensulo ye, naye ng'abikudde ku nsulo y'omusaayi gwe: awo bombi banaazikirizibwanga okuggibwa mu bantu baabwe.
19 So tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko; newakubadde eza mwannyina kitaawo: kubanga afudde obwereere ow'obuko: banaabangako obutali butuukirivu bwabwe.
20 Era omusajja bw'anaasulanga ne mukazi wa kojja we, ng'abikudde ku nsonyi za kojja we: banaabangako ekibi kyabwe; balifa nga tebalina baana.
21 Era omusajja bw'anaawasanga mukazi wa muganda we, bwe butali bulongoofu: ng'abikudde ku nsonyi za muganda we; tebaliba na baana.
22 Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingizaamu okutuula omwo, eremenga okubasesemera ddala.
23 So temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe: kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyenvudde mbakyawa.
24 Naye nabagamba mmwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nange ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.
25 Kyemunaavanga mwawula ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi eteri nnongoofu n'ennongoofu: so temufuulanga mmeeme zammwe za mizizo olw'ensolo, oba olw'ennyonyi, oba olw'ekintu kyonna eky'ekulula ku nsi, bye nnayawula gye muli obutaba birongoofu:
26 Era munaabanga batukuvu gye ndi: kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nabaawula mu mawanga mubeere abange.
27 Era omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, talemanga kuttibwa; banaabakubanga amayinja: omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.