Chapter 12
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu.
3 Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga.
4 Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa.
5 Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe.
6 Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona:
7 kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala.
8 Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.