Chapter 18
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe.
3 Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.
4 Emisango gyange gye muba mukolanga, n'amateeka gange ge muba mwekuumanga, okubitambulirangamu: nze Mukama Katonda wammwe.
5 Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu olw'ebyo: nze Mukama.
6 Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okubikkula ku nsonyi ze: nze Mukama.
7 Ensonyi za kitaawo, ze nsonyi za nnyoko, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi ze.
8 Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo.
9 Ensonyi za mwannyoko azaalibwa kitaawo, azaalibwa nnyoko, oba yazaalibwa waka, yazaalibwa walala, ensonyi zaabwe tozibikkulangako.
10 Ensonyi za muwala wa mutabani wo, oba muwala wa muwala wo, ensonyi zaabwe tozibikkulangako: kubanga ensonyi zaabwe ze zizo ggwe.
11 Ensonyi za muwala wa mukazi wa kitaawo, kitaawo gw'azaala, oyo mwannyoko, tobikkulanga ku nsonyi ze.
12 Tobikkulanga ku nsonyi za ssenga wo: oyo wa buko ne kitaawo.
13 Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko: oyo wa buko ne nnyoko.
14 Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa kitaawo, tosembereranga mukazi we: oyo ssenga wo.
15 Tobikkulanga ku nsonyi za muka mwana wo: oyo muka mutabani wo; tobikkulanga ku nsonyi ze.
16 Tobikkulanga ku nsonyi za muka muganda wo: ze nsonyi za muganda wo.
17 Tobikkulanga ku nsonyi z'omukazi n'eza muwala we; totwalanga muwala wa mutabani we, newakubadde muwala wa muwala we, okubikkula ku nsonyi ze; abo ba buko: ekyo kibi.
18 So totwalanga mukazi wamu ne muganda we, okuba muggya we, okubikkula ku nsonyi ze, wamu ne munne, ye ng'akyali mulamu.
19 So tosembereranga mukazi okubikkula ku nsonyi ze, ng'akyayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe.
20 So tosulanga na muka muliraanwa wo, okweyonoona naye.
21 So towangayo ku zzadde lyo okubayisa mu muliro eri Moleki, so tovumisanga linnya lya Katonda wo: nze Mukama.
22 Tosulanga na basajja, nga bwe basula n'abakazi: ekyo kya muzizo.
23 So tosulanga na nsolo yonna, okweyonoona nayo: so n'omukazi yenna tayimiriranga mu maaso g'ensolo, okugalamira nayo: okwo kwe kutabula.
24 Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna: kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe:
25 n’ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera ddala abagituulamu.
26 Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolangako ku by'emizzo ebyo byonna byonna; newakubadde enzaalwa, newakubadde omugenyi atuula mu mmwe:
27 (kubanga eby'emizizo ebyo byonna abasajja, ab'omu nsi baabikolanga, abaabasooka, n’ensi eyonoonese;)
28 ensi ereme okubasesemera ddala nammwe, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemera ddala eggwanga eryabasooka.
29 Kubanga omuntu yenna bw'anaakolanga kyonna ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola banasibwanga okubaggya mu bantu baabwe.
30 Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonna ku mpisa ezo ez'emizizo, ezaakolebwanga okusooka mmwe, n'obuteeyonoonanga n'ezo: nze Mukama Katonda wammwe.