2 Bassekabaka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25


Chapter 9

1 Awo Erisa nnabbi n'ayita omu ku baana ba bannabbi n'amugamba nti Weesibe ekimyu otwale eccupa eno ey'amafuta mu mukono gwo ogende e Lamosugireydi.
2 Kale bw'olituukayo onoonyezanga eyo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi, oyingire omugolokose ave mu baganda be, omuyingize mu kisenge eky'omunda.
3 Olyoke oddire eccupa ey'amafuta ogafuke ku mutwe gwe oyogere nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. Olyoke oggulewo oluggi odduke so tolwanga.
4 Awo omulenzi, omulenzi nnabbi, n'agenda e Lamosugireyaadi.
5 Awo bwe yatuuka n'asanga abaami ab'omu ggye nga batudde; n'ayogera nti Ndiko kye ntumiddwa gy'oli, ggwe omwami. Yeeku n'ayogera nti Eri ani ku ffe fenna? N'ayogera nti Eri ggwe, omwami.
6 N'agolokoka n'ayingira mu nnyumba; n'afuka amafuta ku mutwe gwe n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri.
7 Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama eri omukono gwa Yezeberi.
8 Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira: era ndimalawo eri Akabu buli mwana wa bulenzi n'oyo asibiddwa n'oyo atasibiddwa mu Isiraeri:
9 Era ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ng'ennyumba ya Yerobowmu mutabani wa Nebati era ng'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya.
10 N'embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika. N'aggulawo oluggi n'adduka.
11 Awo Yeeku n'afuluma n'ajja eri abaddu ba mukama we: ne waba amugamba nti Mirembe? kiki ekireese gy'oli olusajja luno olulalu? N'abagamba nti Omuajja mumumanyi n'ebigambo bye bwe bibadde.
12 Ne boogera nti olimba; tubuulire nno. N'ayogera nti Bw'ati bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
13 Awo ne banguwa ne baddira buli muntu ekyambalo kye ne bakyaliira wansi we waggulu ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere nga boogera nti Yeeku ye kabaka.
14 Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi ne yeekobaana Yolaamu. (Era Yolaamu yali ng'akuuma Lamosugireyaadi) ye ne Isiraeri yenna, olwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli:
15 naye kabaka Yolaamu yali akomyewo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumita bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli.) Awo Yeeku n'ayogera nti Oba nga bwe mwagala bwe mutyo, kale waleme okubaawo anaawona n'ava mu kibuga okugenda okukibuulira mu Yezuleeri.
16 Awo Yeeku n'atambulira mu ggaali n'agenda e Yezuleeri; kubanga Yolaamu yali agalamidde eyo. Era Akaziya kabaka wa Yuda yali aserengese okulambula Yolaamu.
17 Awo omukuumi yali ayimiridde ku kigo mu Yezuleeri, n'alengera ekibiina kya Yeeku ng'ajja n'ayogera nti Ndabye ekibiina. Yolaamu n'ayogera nti Ddira eyeebagala embalaasi otume okubasisinkana, ayogere nti Mirembe?
18 Awo omu n'agenda nga yeebagadde embalaasi okumusisinkana n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Mirembe? Yeeku n'ayogera nti Emirembe ogifaako ki? kyuka odde ennyuma wange. Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Omubaka atuuse gye bali, naye tadda.
19 Awo n'atuma ow'okubiri nga yeebagadde embalaasi, n'atuuka gye baali n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Mirembe? Yeeku n'addamu nti Emirembe ogifaako ki? kyuka odde ennyuma wange.
20 Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Atuuse gye bali, so tadda: era entambula eriŋŋanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka.
21 Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, ne bafuluma okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu musiri gwa Nabosi Omuyezuleeri.
22 Awo olwatuuka Yolaamu bwe yalaba Yeeku n'ayogera nti Mirembe, Yeeku? N'addamu nti Mirembe ki, obwenzi bwa nnyoko Yezeberi n'obulogo bwe nga bukyali bungi obwenkanidde awo?
23 Yolaamu n'akyusa emikono gye n'adduka n'agamba Akaziya nti O! Akaziya, waliwo olukwe.
24 Awo Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna n'alasa Yolaamu wakati w'emikono gye, akasaale ne kayitamu ne kagguka awali omutima, n'agwira mu ggaali lye.
25 Awo Yeeku n'agamba Bidukali omwami we nti Musitule omusuule mu musiri ogw'ekyalo kya Nabosi Omuyezuleeri: kubanga jjukira, nze naawe bwe twebagala, fembi nga tugoberera Akabu kitaawe, Mukama n'amuteekako omugugu guno; nti
26 Mazima nalabye jjo omusaayi gwa Nabosi n'omusaayi gw'abaana be, bw'ayogera Mukama; era ndikusasulira mu musiri guno, bw'ayogera Mukama. Kale nno musitule omusuule mu musiri ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama.
27 Naye Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba kino, n'addukira mu kkubo ery'omu nnyumba ey'olusuku. Yeeku n'amugoberera n'ayogera nti Mumuttire mu ggaali naye: ne bamuttira awalinnyirwa okugenda e Guli ekiriraanye Ibuleamu. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo.
28 Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ne bamutwala e Yerusaalemi, ne bamuziikira mu ntaana ye wamu ne bajjajjbe mu kibuga kya Dawudi.
29 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu Akaziya n'atanula okufuga Yuda.
30 Awo Yeeku bwe yatuuka e Yezuleeri, Yezeberi n'akiwulira, n'aziga amaaso ge n'ayonja omutwe gwe n'alingiza mu ddirisa.
31 Awo Yeeku bwe yali ng'ayingira mu mulyango, n'ayogera nti Mirembe, ggwe Zimuli, omussi wa mukama wo?
32 N'ayimusa amaaso ge eri eddirisa n’ayogera nti Ani ali ku lwange, ani? Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza gy'ali.
33 N'ayogera nti Mumusuule wansi. Awo ne bamusuula wansi: omusaayi gwe ne gumansukirako ku kisenge ne ku mbalaasi, n'amulinyirira n'ebigere.
34 Awo bwe yayingira n'alya n'anywa; n'ayogera nti Mulabirire nno omukazi ono eyakolimirwa mumuziike: kubanga mwana wa kabaka.
35 Ne bagenda okumuziika: naye ne batasangawo ku ye wabula ekiwanga n'ebigere n'ebibatu by'emikono gye.
36 Kyebaava bakomawo ne bamubuulira. Naye n'ayogera nti Kino kye kigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng'ayogera nti Embwa ziririira omubiri gwa Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri:
37 n'omulambo gwa Yezeberi guliba ng'obusa ku ttale mu musiri ogw'e Yezuleeri, n'okwogera ne batayogera nti Ono ye Yezeberi.