Chapter 15
1 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n’atanula okufuga.
2 Yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemi.
3 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe biri kitaawe Amaziya bye yakolanga.
4 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.
5 Awo Mukama n'alwaza kabaka n'okugengewala n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'asulanga mu nnyumba eyayawulwa. Era Yosamu mutabani wa kabaka ye yali saabakaaki ng'asalira abantu ab'omu nsi emisango.
6 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Azaliya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
7 Azaliya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
8 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukaaga.
9 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga bajjajjaabe bwe baakolanga: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
10 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'amwekobaana n'amufumitira mu maaso g'abantu n'amutta, n'afuga mu kifo kye.
11 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zekkaliya, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
12 Ekyo kye kyali ekigambo kya Mukama kye yagamba Yeeku nti Batabani bo balituusa emirembe egy'okuna okutuula ku ntebe ya Isiraeri. Era ne kituukirira bwe kityo.
13 Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'atanula okufuga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga ery'omwezi mu Samaliya.
14 Awo Menakemu mutabani wa Gaadi n'ayambuka ng'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya n'afumitira Sallumu mutabani wa Yabesi mu Samaliya, n'amutta n'afuga mu kifo kye.
15 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sallumu n'okwekoba kwe kwe yeekoba, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
16 Awo Menakemu n'akuba Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ensalo zaakyo okuva e Tiruza: kubanga tebaamuggulirawo, kyeyava akikuba; abakazi bonna abaakirimu abaali embuto n'ababaaga.
17 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Menakemu mutabani wa Gaadi n'atanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
18 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ennaku ze zonna nga tava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri:
19 Puli kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi, omukono gwe gubeerenga naye okunyweza obwakabaka mu mukono gwe.
20 Menakemu n'asolooza effeeza ku Isiraeri ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri amakumi ataano, okuwa kabaka w'e Bwasuli. Awo kabaka w'e Bwasuli n'addayo n'atabeera eyo mu nsi.
21 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Menakemu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
22 Menakemu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Pekakiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
23 Mu mwaka ogw'amakumi ataano ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri:
24 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
25 Awo Peka mutabani wa Lemaliya omwami we n'amwekobaana n'amufumitira mu Samaliya mu kigo eky'omu nnyumba ya kabaka wamu ne Alugobu ne Aliye; era abasajja amakumi ataano ab'oku Bagireyaadi ne baba wamu naye: n'amutta n'afuga mu kifo kye.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Pekakiya ne byonna bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
27 Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi abiri.
28 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
29 Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n'ajja n'amenya Iyoni ne Aberubesumka ne Yanowa Kedesi ne Kazoli ne Gireyaadi Ggaliraaya, ensi yonna eya Nafutali; n'abatwala nga basibe e Bwasuli
30 Awo Koseya mutabani wa Era ne yeekobaana Peka mutabani wa Lamaliya, n'amufumita n'amutta n'afuga mu kifo kye mu mwaka ogw’amakumi abiri ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
31 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Peka ne byonna bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
32 Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
33 Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadooki.
34 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: yakola nga byonna bwe biri kitaawe Uzziya bye yakola,
35 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu. N'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama,
36 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
37 Mu biro ebyo Mukama mwe yatanulira okusindika Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda.
38 Awo Yosamu ne Yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Akazi mutabani we n'afuga mu kifo kye.