Chapter 20
1 Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.
2 Awo n'akyusiza amaaso ge ku kisenge n'amwegayirira Mukama ng'ayogera nti
3 Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
4 Awo olwatuuka Isaaya nga tannafuluma okugenda mu luuyi lw'ekibuga olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti
5 Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya : ku lunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama.
6 Era ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano; era ndirokola ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuuli; era ndirwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.
7 Awo Isaaya n'ayogera nti Muddire ekitole ky'ettiini. Ne bakiddira ne bakiteeka ku jjute, n'awona.
8 Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Kaluwa akabonero nga Mukama alimponya era nga ndirinnyira mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusatu?
9 Isaaya n'ayogera nti Kano ke kaliba akabonero gy'oli akava eri Mukama nga Mukama alikola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaddayo ennyuma amadaala kkumi?
10 Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okukka amadaala kkumi kigambo kyangu: nedda, naye ekisiikirize kiddeyo ennyuma amadaala kkumi,
11 Isaaya nnabbi n'akaabirira Mukama: n'azzaayo ennyuma ekisiikirize ebbanga ery'amadaala ekkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi.
12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w'e Babulooni n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwadde.
13 Awo Keezeekiya n'abawulira n'abalaga ennyumba yonna ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n’amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'ebyokulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
14 Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ey'ewala mu Babulooni.
15 N'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.
16 Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama.
17 Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama.
18 Era balitwala ne ku batabani bo abalikuvaamu b'olizaala: kale baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w'e Babulooni.
19 Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Si weewaawo, emirembe n'amazima bwe binaabangawo ku mirenbe gyange?
20 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya n’amaanyi ge gonna era bwe yasima ekidiba n'olusalosalo n’aleeta amazzi mu kibuga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
21 Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Manase mutabani we n'afuga mu kifo kye.