2 Bassekabaka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25


Chapter 14

1 Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yowaasi mutabani wa Yowakaazi kabaka wa Isiraeri Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
2 Yali yakamaze emyaka makumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoyadiini ow'e Yerusaalemi.
3 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye nga tamwenkana Dawudi kitaawe bye yakola nga byonna bwe byali Yowaasi kitaawe bye yakolanga.
4 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.
5 Awo olwatuuka obwakabaka nga kye bujje bunywezebwe mu mukono gwe n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe:
6 naye abaana b'abassi teyabatta: ng'ebyo bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, nga Mukama bwe yalagira ng'ayogera nti Bakitaabwe tebattibwanga ku lw'abaana, so n'abaana tebattibwanga ku lwa bakitaabwe; naye buli muntu anaafanga olw'okwonoona kwe ye.
7 Ku Edomu n'attirako kakumi mu Kiwonvu eky'Omunnyo, n'amenya Seera ng'alwana, n'akituuma erinnya lyakyo Yokuseeri ne leero.
8 Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri: ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso.
9 Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogw'ali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Muwe muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango.
10 Mazima okubye Edomu, n'omutima gwo gukugulumizizza okyenyumiririzeemu obeere eka; kubanga lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa ggwe ne Yuda wamu naawe?
11 Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.
12 Yuda n'agobebwa mu maaso ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye.
13 Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi mutabani wa Akaziya e Besusemesi, n'ajja e Yerusaalemi n'amenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina.
14 N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n'ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'ab'emisango, n'addayo e Samaliya.
15 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi bye yakola n'amaanyi ge era bwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
16 Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bakabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
17 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'amala emyaka kkumi n'etaano Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okufa.
18 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya basse kabaka ba Yuda?
19 Ne bamwekobaanira mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi: naye ne batuma Erakisi okumugoberera ne bamuttira eyo.
20 Ne bamuleetera ku mbalaasi: n'aziikibwa mu Yerusaalemi wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi.
21 Awo abantu bonna aba Yuda ne batwala Azaliya eyali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga, ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
22 Ye yazimba Erasi n'akizza eri Yuda, kabaka ng'amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe.
23 Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atanula okufuga mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi ana mu gumu.
24 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.
25 Yazzaayo ensalo ya Isiraeri okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku nnyanja eya Alaba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama Katonda wa Isiraeri kye yayogerera mu mukono gw'omuddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow'e Gasukeferi.
26 Kubanga Mukama n'alaba okubonyabonyezebwa kwa Isiraeri, nga kuzibu nnyo: kubanga tewaali eyasibibwa newakubadde ataasibibwa, wadde omubeezi eri Isiraeri.
27 Mukama n'atayogera ng'alisangula erinnya lya Isiraeri okuva wansi w'eggulu: naye n'abalokolera mu mukono gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi.
28 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu ne byonna bye yakola n'amaanyi ge bwe yalwana ne bwe yakomezaawo Isiraeri Ddamasiko ne Kamasi ebyabanga ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
29 Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, be bassekabaka ba Isiraeri; Zekkaliya mutabani we n'afuga mu kifo kye.