Chapter 16
1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Peka mutabani wa Lemaliya Akazi mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
2 Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: n'atakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi nga Dawudi kitaawe.
3 Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'okuyisa n'ayisa mutabani we mu muliro ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
4 N'awangayo saddaaka n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi.
5 Awo Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne bambuka e Yerusaalemi okulwana: ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula.
6 Mu biro ebyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yakomerezaawo Obusuuli e Erasi n'agoba Abayudaaya mu Erasi: Abasuuli ne bajja e Erasi ne babeera eyo ne leero.
7 Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo : yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeddeko.
8 Awo Akazi n'addira ezaabu n’effeeza ezaalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli okuba ekirabo.
9 Awo kabaka w'e Bwasuli n'amuwulira: kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Ddamasiko n'akimenya, n'atwala abaayo nga basibe e Kiri, n'atta Lezini.
10 Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alaba ekyoto ekyali e Ddamasiko: kabaka Akazi n'aweereza Uliya kabona embala y'ekyoto n'engeri yaakyo ng'omulimu gwakyo gwonna bwe gwali.
11 Awo Uliya kabona n'azimba ekyoto nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweezeza ng'ayima e Ddamasiko bw'atyo Uliya kabona bwe yakikola kabaka Akazi akisange ng'avudde e Ddamasiko.
12 Awo kabaka bwe yajja okuva e Ddamasiko, kabaka n’alaba ekyoto: kabaka n'asemberera ekyoto n'eweerayo ku kyo saddaaka.
13 N'ayokya ekyo kye yawaayo ekyokebwa n'ekyo kye yawaayo eky'obutta n'afuka ekyo kye yawaayo ekyokunywa, n'amansira omusaayi gw'ebyo bye yawaayo olw'emirembe ku kyoto.
14 Era ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama n'akiggya mu bwenyi bw'ennyumba wakati w'ekyoto kye n'ennyumba ya Mukama, n'akiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'ekyoto kye.
15 Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona ng'ayogera nti Oyokeranga ku kyoto ekinene ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya n'ekiweebwayo eky'obutta eky'akawungeezi n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya kabaka n'ekikye ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu bonna ab'omu nsi eyo n'ekyabwe ekiweebwayo eky'obutta n'ebyabwe ebiweebwayo ebyokunywa; omansirangako omusaayi gwonna ogw'ekiweebwayo ekyokebwa n'omusaayi gwonna ogwa saddaaka: naye ekyoto eky'ekikomo kinaabanga kya kulagulirako gye ndi.
16 Bw'atyo Uliya kabona n'akola nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yalagira.
17 Awo kabaka Akazi n'asalako emigo gy'entebe n'aggya ekinaabirwamu ku zo; n'assa ennyanja ng'agiggya ku ntebe ez'ebikomo ezaali wansi waayo, n'agiteeka ku mayinja amaaliire.
18 N'ekkubo eryabikkibwako erya ssabbiiti lye baali bazimbye mu nnyumba n'omulyango gwa kabaka ebweru n'alyetoolooza ennyumba ya Mukama olwa kabaka w'e Bwasuli.
19 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akazi bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
20 Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Keezeekiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.