Chapter 8
1 Era Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Golokoka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ayise enjala; kale n'okugwa erigwira ku nsi emyaka musanvu.
2 Awo omukazi n'agolokoka n'akola ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: n'agenda n'ennyumba ye n'abeera mu nsi y'Abafirisuuti emyaka musanvu.
3 Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyayitawo; omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'afuluma okukaabirira kabaka olw'ennyumba ye n'ekyalo kye:
4 Awo kabaka yali ng'ayogera ne Gekazi omuddu w'omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira ebikulu byonna Erisa bye yakola.
5 Awo olwatuuka bwe yali ng'abuulira kabaka bwe yazuukiza oyo eyali afudde, laba, omukazi gwe yazuukiriza omwana we n'akaabirira kabaka olw'ennyumba ye n'ekyalo kye. Gekazi n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, ono ye mukazi n'ono ye mwana we Erisa gwe yazuukiza.
6 Awo kabaka bwe yabuuza omukazi n'amubuulira. Awo kabaka n'amuteekako omumbowa omu ng'ayogera nti Muddize byonna ebyali ebibye n'ebibala byonna eby'ekyalo okuva ku lunaku lwe yaviiramu mu nsi okutuusa leero.
7 Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno.
8 Kabaka n'agamba Kazayeeri nti Twala ekirabo mu mukono gwo ogende osisinkane omusajja wa Katonda omubuulizeemu eri Mukama ng'oyogera nti Ndiwona endwadde eno?
9 Awo Kazayeeri n'agenda okumusisinkana n'atwala ekirabo eky'oku buli kintu ekirungi eky'omu Ddamasiko, ebyetikkibwa n'eŋŋamira amakumi ana, n'ajja n'ayimirira mu maaso ge n'ayogera nti Omwana wo Benikadadi kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'ayogera nti Ndiwona endwadde eno?
10 Erisa n'amugamba nti Genda omugambe nti Tolirema kuwona; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa.
11 N'amwekaliriza amaaso okutuusa ensonyi lwe zaamukwata: omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga.
12 Awo Kazayeeri n'ayogera nti Mukama wange akaabira ki? N'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, n'abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, era olitandagira abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto.
13 Awo Kazayeeri n'ayogera nti Naye omuddu wo kye ki, ye mbwa obubwa, akole ekigambo ekyo ekikulu? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli.
14 Awo n'ava awali Erisa n'ajja eri mukama we; n'amugamba nti Erisa yakugamba ki? N'addamu nti Yambuulira nga tolirema kuwona.
15 Awo olwatuuka enkya n'addira eky'okwebikka n'akinnyika mu mazzi n'akiteeka ku maaso ge n'okufa n'afa: Kazayeeri n'afuga mu kifo kye.
16 Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
17 Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
18 N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
19 Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda ku lwa Dawudi omuddu we nga bwe yamusuubiza okumuwa ettabaaza olw'abaana be emirembe gyonna.
20 Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beekolera kabaka.
21 Awo Yolaamu n'asomoka n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali: abantu ne baddukira mu weema zaabwe.
22 Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo.
23 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yolaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
24 Awo Yolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25 Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
26 Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri.
27 N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
28 N'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
29 Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde.