2 Bassekabaka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25


Chapter 24

1 Ku mirembe gye Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ayambuka, Yekoyakimu n'afuuka omuddu we emyaka esatu: awo n'alyoka akyuka n'amujeemera.
2 Awo Mukama n'amusindikira ebibiina eby'Abakaludaaya n'ebibiina eby'Abasuuli n'ebibiina eby'Abamowaabu n'ebibiina eby'abaana ba Amoni, n'abasindika ku Yuda okugizikiriza ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera n'omukono gw'abaddu be bannabbi.
3 Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa Manase nga byonna bwe byali bye yakola;
4 era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atayagala kusonyiwa.
5 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
6 Awo Yekoyakimu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Yekoyakini mutabani we n'afuga mu kifo kye.
7 Awo kabaka w'e Misiri teyeeyongera nate kujjanga okuva mu nsi ye: kubanga kabaka w'e Babulooni yali alidde byonna ebyabanga ebya kabaka w'e Misiri okuva ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati.
8 Yekoyakini yali yaakamaze emyaka kkumi na munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: n'ennyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi.
9 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakolanga.
10 Mu biro ebyo abaddu ba Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni ne bambuka e Yerusaalemi, ekibuga ne kizingizibwa.
11 Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ajja eri ekibuga, abaddu be nga bakyakizingiza;
12 Yekoyakini kabaka wa Yuda n'afuluma n'ajja eri kabaka w'e Babulooni, ye ne nnyina n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be: kabaka w'e Babulooni n'amukwata mu mwaka ogw'omunaana kasooka alya abwakabaka.
13 N'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atematema ebintu byonna ebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera.
14 N'atwalira ddala Yerusaalemi kyonna n'abakungu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe kakumi, ne baffundi bonna n'abaweesi; tewali abaasigalawo wabula abo abaasinga obwavu ku bantu ab'omu nsi.
15 N'atwala Yekoyakini e Babulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi.
16 Era abasajja bonna ab'amaanyi, kasanvu, ne baffundi n'abaweesi, lukumi, bonna ba maanyi nga basaanidde okulwana, abo kabaka w'e Babulooni n'abatwala e Babulooni nga basibe.
17 Awo kabaka w'e Babulaoni n'afuula Mataniya muganda wa kitaawe kabaka mu kifo kye, n'awaanyisa erinnya lye n'amutuuma Zeddekiya.
18 Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
19 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola.
20 Kubanga kyatuukirira mu Yerusaalemi ne mu Yuda lwa busungu bwa Mukama okutuusa lwe yamala okubagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni.