Chapter 17
1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Akazi kabaka wa Yuda Koseya mutabani wa Era n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka mwenda.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, era naye nga tabenkana bassekabaka ba Isiraeri abaamusooka.
3 Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n'amutabaala; Koseya n'afuuka muddu we n'amuleeteranga ebirabo.
4 kabaka w'e Bwasuli n'alaba olukwe mu Koseya; kubanga yali atumidde So kabaka w'e Misiri ababaka, n'atawa kabaka w'e Bwasuli kirabo nga bwe yakolanga buli mwaka: kabaka w'e Bwasuli kyeyava amuteeka mu kkomera n'amusiba.
5 Awo kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi yonna n'ayambuka e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu.
6 Mu mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka w'e Bwasuli n'amenya Samaliya, n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani ne mu bibuga eby'Abameedi.
7 Awo ne kiba bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuva wansi w'omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne batya bakatonda abalala,
8 ne batambulira mu mateeka g'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri ne mu ga bassekabaka ba Isiraeri, ge baateeka.
9 Era abaana ba Isiraeri ne bakolanga kyama ebigambo ebitali birungi eri Mukama Katonda waabwe, ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu kibuga ekiriko enkomera.
10 Era ne beesimbira empagi ne Baasera ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi:
11 ne bootererezanga eyo obubaane ku bifo byonna ebigulumivu ng'amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yaggyawo okubasooka; ne bakolanga eby'ekyejo okusunguwaza Mukama:
12 ne baweerezanga ebifaananyi Mukama bye yabagambako nti Temukolanga kigambo kino.
13 Era naye Mukama n'ategeerezanga Isiraeri ne Yuda mu mukono gwa buli nnabbi n'ogwa buli mulabi ng'ayogera nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe era ge nnabaweereza mu mukono gw'abaddu bange bannabbi.
14 Era naye ne bataganya kuwulira naye ne bakakanyazanga ensingo yaabwe ng'ensingo ya bajjajjaabwe abatakkiriza Mukama Katonda waabwe.
15 Ne bagaananga amateeka ge n'endagaano ye gye yalagaana ne bajjajjaabwe n'ebyo bye yategeeza gye bali; ne bagobereranga ebirerya ne bafuukanga ba birerya, ne bagobereranga amawanga agabeetoolodde, Mukama ge yabakuutirako baleme okukola okubafaanananga.
16 Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga eggye lyonna ery'omu ggulu, ne baweerezanga Baali.
17 Ne bayisanga abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala mu muliro, ne bakola eby'obufumu n'eby'obulogo, ne beetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, okumusunguwaza.
18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abaggya mu maaso ge: tewaali eyasigalawo wabula ekika kya Yuda kyokka.
19 Era ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, naye ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka.
20 Mukama n'agaana ezzadde lyonna erya Isiraeri n'ababoonyaboanyanga n'abagabula mu mukono gw'abanyazi okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.
21 Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka: Yerobowaamu n'agoba Isiraeri obutagoberera Mukama, n'aboonoonyesa okwonoona okunene.
22 Awo abaana ba Isiraeri ne batambuliranga mu bibi byonna ebya Yerobowaamu bye yakola; tebabivangamu;
23 okutuusa Mukama lwe yaggya Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogera n'omukono gw'abaddu be bonna bannabbi. Awo Isiraeri ne batwalirwa ddala okuva mu nsi yaabwe mu Bwasuli ne leero.
24 Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babulooni ne Kusa ne Ava ne Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne balya Samaliya ne batuula mu bibuga byayo.
25 Awo olwatuuka bwe baasooka okutuula omwo ne batatya Mukama: Mukama kyeyava asindika mu bo empologoma ne zibattako abamu.
26 Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava asindika mu bo empologoma, era, laba, zibatta kubanga tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi.
27 Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi.
28 Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n’abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama.
29 Naye buli ggwanga ne beekoleranga bakatonda baabwe bo ne babateeka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu Abasamaliya bye baali bakoze, buli ggwanga mu bibuga byabwe mwe baabeera.
30 Abasajja ab'e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab'e Kuusi ne bakola Nerugali, abasajja ab'e Kamasi ne bakola Asima,
31 Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookeranga abaana baabwe mu muliro eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu.
32 Awo ne batyanga Mukama ne beeyawulira bakabona b'ebifo ebigulumivu nga babaggya mu bo bennyini, abaabaweerangayo ssaddaaka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu.
33 Ne batyanga Mukama, ne baweerezanga bakatonda baabwe bo ng'engeri bwe yali ey'amawanga ge baggibwamu okutwalibwa.
34 Baakola na buli kati ng'empisa ez'edda bwe zaali: tebaatyanga Mukama so tebaakolanga ng'amateeka gaabwe bwe gaali newakubadde nga bwe baalagirwa newakubadde ng'etteeka n'ebiragiro bwe biri Mukama bye yalagira abaana ba Yakobo gwe yatuuma Isiraeri;
35 Mukama gwe yali alagaanye naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temutyanga bakatonda abalala, so temubakutamiranga, so temubaweerezanga, so temuwangayo ssaddaaka eri bo:
36 naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga mutya era oyo gwe mubanga mukutamira, era eri oyo gye mubanga muwa ssaddaaka:
37 n'amateeka ne bye mwalagirwa ne tawuleti n'ekiragiro kye yabawandiikira, munaabikwatanga okubikola ennaku zonna; so temutyanga bakatonda abalala:
38 n'endagaano gye ndagaanye nammwe temugyerabiranga; so temutyanga bakatonda abalala:
39 naye Mukama Katonda wammwe gwe mubanga mutya; era ye anaabalokolanga mu mukono gw'abalabe bammwe bonna.
40 Era naye ne batawulira naye ne bakola ng'empisa yaabwe ey'edda bwe yali.
41 Awo amawanga gano ne gatya Mukama ne baweereza ebifaananyi byabwe ebyole; era n'abaana baabwe bwe batyo n'abaana b'abaana baabwe, nga bajjajjaabwe bwe baakolanga, bwe batyo bwe baakola na buli kati.