2 Bassekabaka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25


Chapter 18

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okusatu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.
2 Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
3 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Dawudi bye yakolanga.
4 Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okutuusa mu biro ebyo abaana ba Isiraeri nga bagwoterereza obubaane; n'aguyita nti Kikomo bukomo.
5 Yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri; awo oluvannyuma lwe ne wataba amufaanana mu bakabaka bonna aba Yuda so si mu abo abaamusooka.
6 Kubanga yeegatta ne Mukama, teyaleka kumugoberera naye n'akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa.
7 Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yafulumanga yonna n'alabanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza.
8 N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ensalo zaakyo, ekigo eky'omukuumi era n'ekibuga ekiriko enkomera.
9 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Samaliya n'kizingiza.
10 Awo emyaka esatu bwe gyayitawo ne bakimenya: mu mwaka ogw'omukaaga ogwa Keezekiya, gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri, Samaliya ne kimenyebwa.
11 Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, ne mu bibuga eby'Abameedi:
12 kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye ne basobya endagaano ye, byonna Musa omuddu wa Mukama bye yalagira, ne batakkiriza kubiwulira newakubadde okubikola.
13 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya.
14 Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ddayo onveeko: by'ononsalira nnaabikkiriza. Kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talanta ebikumi bisatu n'ezaabu talanta amakumi asatu.
15 Era Keezeekiya n'amuwa effeeza yonna eyalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka.
16 Mu biro ebyo Keezeekiya n'asala ezaabu ku nzigi za yeekaalu ya Mukama ne kumpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda ze yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli.
17 Awo kabaka w'e Bwasuli n'atuma Talutani ne Labusalisi ne Labusake ng'ayima e Lakisi eri kabaka Keezeekiya, nga balina eggye lingi, e Yerusaalemi. Ne batabaala ne bajja e Yerusaalemi. Awo nga batabadde ne bajja ne bayimirira awali olusalosalo olw'ekidiba ekyengulu ekiri mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye.
18 Awo bwe baayita kabaka, ne wafuluma eri bo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza.
19 Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli nti Bwesige ki buno bwe weesiga? nti
20 Oyogera, naye bigambo bya mu kamwa bumwa, nti Waliwo amagezi n'amaanyi ag'okulwana: Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera?
21 Laba nno weesiga omuggo ogw'olumuli luno olwatifu, ye Misiri; omuntu bw'aneesigama okwo, lunaayingira mu mukono gwe ne lugufumita: bw'atyo Falaawo kabaka w'e Misiri bw'ali eri abo bonna abamwesiga.
22 Naye bwe munaŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gw'aggidewo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino mu Yerusaalemi?
23 Kale nno, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli, nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw'onooyinza okuziteekako abazeebagala.
24 Kale onooyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi.
25 Nze ntabadde ekifo kino kaakano awatali Mukama okukizikiriza? Mukama ye yaŋŋamba nti Tabaala ensi eno ogizikirize.
26 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulutegeera: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.
27 Naye Labusake n'abagamba nti Mukama wange yantumira mukama wo naawe okwogera ebigambo bino? tantumidde basajja abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo n'okunywera enkali yaabwe bo wamu nammwe?
28 Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli.
29 Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwe:
30 so Keezeekiya tabeesizanga Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutulokola, n'ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
31 Temuwulirizanga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli nti Mutabagane nange mufulume gye ndi; ne mulya buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, ne munywa buli muntu amazzi ag'omu kidiba kye ye;
32 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwulirizanga Keezeekiya bw'alibasendasenda ng'ayogera nti Mukama alitulokola.
33 Waliwo katonda yenna ku bakatonda b'amawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli?
34 Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab'e Kena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange?
35 Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama alokole Yerusaalemi mu mukono gwange?
36 Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kityo nti Temumuddamu.
37 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.