Chapter 19
1 Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.
2 N'atuma Eriyakimu eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
3 Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa buyinike era lwa kunenyezebwa era lwa kuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala.
4 Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, era n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusa okusaba kwo ku lwabo abasigadde.
5 Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya.
6 Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivodde.
7 Laba, naateeka omwoyo mu ye, kale anaawulira ekigambo n'addayo mu nsi ye; nange ndimugwisa n'ekitala mu nsi ye ye.
8 Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde ng'avudde ku Lakisi.
9 Awo bwe yawulira nga boogera ku Tiraka kabaka w'e Esiyoopya nti Laba, atabadde okulwana naawe: n'atumira nate Keezeekiya ababaka ng'ayogera nti
10 Bwe mutyo bwe muba mugamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
11 Laba, wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, naawe olirokoka?
12 Bakatonda b'amawanga baabalokola abo bajjajjange be baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abaana ba Edeni abali mu Terasali?
13 Kabaka w'e Kamasi ali ludda wa ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Kena n'ow'e Yiva?
14 Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15 Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi.
16 Tega okutu kwo, ai Mukama, owulire; zibula amaaso go; ai Mukama, olabe: owulire ebigambo bya Sennakeribu by'amutumye okuvuma Katonda omulamu.
17 Mazima, Mukama, bakabaka b'e Bwasuli baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe,
18 era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda naye mulimu gwa mikono gya bantu, emiti n'amayinja; kyebaava babazikiriza.
19 Kale nno, ai Mukama Katonda waffe, tulokole, nkwegayiridde, mu mukono gwe obwakabaka bwonna obw'ensi bamanye nga ggwe Mukama Katonda, ggwe wekka.
20 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde.
21 Kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: nti Omuwala wa Sayuuni atamanyanga musajja akunyoomye, akusekeredde; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe.
22 Ani gw'ovumye gw'ovodde? ani gw'ogulumirizzaako eddoboozi lyo n'oyimusa waggulu amaaso go? ku Mutukuvu owa Isiraeri.
23 Ovumidde Mukama mu babaka bo n'oyogera nti Nninnye ku ntiko y'ensozi n'olufulube lw'amagaali gange, ku njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditema emivule gyako emiwanvu n'emiberosi gyako egisinga obulungi: era ndiyingira mu kisulo kyako ekikomereddeyo, mu kibira eky'ennimiro yaako engimu.
24 Nsimye, nnywedde amazzi ag'abannaggwanga, era ndikaza n'ebigere byange emigga gyonna egy'e Misiri:
25 Tewawulira bwe nnakikola edda, ne nkibumba okuva mu biro eby'edda? kaakano nkituukirizza obeere wa kuzikiriza bibuga ebiriko enkomera n'obifuula ebifunvu eby'amatongo.
26 Ababituulamu kyebava babeera n'amaanyi amatono, ne batekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu ttale era ng'omuddo omubisi, ng'essubi eriri waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
27 Naye mmanyi okutuula kwo n'okufuluma kwo n'okuyingira kwo ne bw'ondalukira.
28 Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo zo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, ne nkuddizaayo mu kkubo lye wafulumamu.
29 Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogw'okusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu.
30 Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu.
31 Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama bulituukiriza ekyo.
32 Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako kifunvu.
33 Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama.
34 Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.
35 Awo olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n'afuluma n’atta mu lusiisira olw'Abasuuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu.
36 Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve.
37 Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi y'e Alalati. Esaladoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.