Chapter 12
1 Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku Yekoyaasi n'atanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
2 Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu.
3 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka ne bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.
4 Awo Yekoyaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, eziyitaŋŋana, effeeza ez'abantu buli muntu z'awandiikirwa, n'effeeza zonna omuntu yenna ze yettula okuleeta mu nnyumba ya Mukama,
5 bakabona bazitwale ewaabwe, buli muntu ng'aziggya ku abo b'amanyi: kale baliziba ebituli by'ennyumba yonna yonna ekituli gye kinaalabikira.
6 Naye olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Yekoyaasi bakabona nga tebannaziba bituli bya nnyumba.
7 Awo kabaka Yekoyaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'abagamba nti Kiki ekibalobera okuziba ebituli by'ennyumba? kale nno temweyongera kuggya ffeeza ku abo be mumanyi, naye mugisasule olw'ebituli by'ennyumba.
8 Awo bakabona ne bakkiriza obutaggya nate ffeeza ku bantu newakubadde okuziba ebituli by'ennyumba.
9 Naye Yekoyada kabona n'addira ebbweta n'awummula ekituli mu kisnikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezleetebwanga mu nnyumba ya Mukama.
10 Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu bbweta mulimu effeeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bambuka, ne batereka effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama mu nsawo, ne bazibala.
11 Ne bawa effeeza ezaagerebwa mu mikono gy'abo abaakola emirimu abaalabirira ennyumba ya Mukama: ne baziwyo eri ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama,
12 n'eri abazimbi b'amayinja n’abatema amayinja n'olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuziba ebituli by'ennyumba ya Mukama, n'olwa byonna ebyajjirira ennyumba okugiddaabiriza.
13 Naye ebikompe ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'amakondeere n'ebintu byonna ebya zaabu oba ebintu ebya ffeeza tebyakolerwa nnyumba ya Mukama n'effeeza ezaaletebwa mu nnyumba ya Mukama:
14 kubanga ezo ne baziwa abo abaakola emirimu, era ne baziddaabirizisa ennyumba ya Mukama.
15 Era tebaabalirira muwendo eri abasajja be baawa effeeza mu mukono gwabwe okubawa abo abaakola emirimu: kubanga baakolanga n'obwesigwa.
16 Effeeza ez'ebiweebwayo olw'omusango n'effeeza ez'ebiweebwayo olw'okwonoona tezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama: zaabanga za bakabona.
17 Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ayambuka n'alwana ne Gaasi n'akimenya: Kazayeeri n'asimba amaaso ge okwambuka e Yerusaalemi.
18 Awo Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna ebyatukuzibwa, Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawonga, n'ebintu bye ye ebyatukuzibwa n'ezaabu yonna eyalabika mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli: n'ava ku Yerusaalemi.
19 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
20 Abaddu be ne bagolokoka ne beekobaana ne battira Yowaasi awali ennyumba ey'e Miiro ku kkubo eriserengeta e Sirra.
21 Kubanga Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.