-
1 Naye olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu ow'okubiri ne bajja okulaba amalaalo.
2 Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuliggyawo, n'alituulako.
3 Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira:
4 era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde.
5 Naye malayika n'addamu n'agamba abakazi nti Mmwe temutya: kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa.
6 Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira.
7 Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; gye mulimulabira: laba, mbabuulidde.
8 Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa n'essanyu lingi, ne baddukana okubuulira abayigirizwa be.
9 Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti Mirembe. Ne bajja ne bamukwata ebigere, ne bamusinza.
10 Awo Yesu n'abagamba nti Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.
11 Naye bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddeyo.
12 Ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne babaweera basserikale effeeza nnyingi,
13 ne bagamba nti Mugambanga nti Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase.
14 Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa ow'essaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango.
15 Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero.
16 Naye abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Ggaliraaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira.
17 Bwe baamulaba ne bamusinza: naye abalala ne babuusabuusa.
18 Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
19 Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;
20 nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.