-
1 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?
2 N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe,
3 n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
4 Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5 Na buli alisembeza omwana omuto ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze:
6 naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
7 Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
8 Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.
9 Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeem ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
10 Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
11 Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.
12 Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko?
13 Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.
14 Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.
15 Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo.
16 Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.
17 Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
18 Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu.
19 Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
20 Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21 Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? kutuusa emirundi musanvu?
22 Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu.
23 Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be.
24 Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi.
25 Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe.
26 Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna.
27 Mukama w'omuddu oyo n'amuaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja.
28 Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange.
29 Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula.
30 N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja.
31 Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo.
32 Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira:
33 naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?
34 Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
35 Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.