Matayo

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

  • 1 Naye obudde bwe bwakya bakabona abakulu bonna n'a bakadde b'abantu ne bateesa wamu ebya Yesu okumutta:
    2 ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato ow'essaza.
    3 Awo Yuda, eyamulyamu olukwe, bwe yalaba ng'omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo amakumi asatu ebya ffeeza
    4 ng'agamba nti Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi. Naye bo ne bamugamba nti Guno guli ku ffe? musango gwo.
    5 Effeeza n'azisuula mu yeekaalu n'afuluma, n'agenda yeetuga.
    6 Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.
    7 Ne bateesa, ne bazigulamu olusuku lw’omubumbi, okuziikangamu abagenyi.
    8 Olusuku luli kyeruva luyitibwa olusuku lw'omusaayi, ne kaakano.
    9 Awo lwe kyatuukirira ekyayogererwa mu nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti Ne batwala ebitundu ebya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo gwe baalamula omuwendo, abantu ku baana ba Isiraeri gwe baalamula;
    10 ne babiggyamu olusuku lw'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.
    11 Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'ow'essaza: ow'essaza n'amubuuza ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Yesu n'amugamba nti Oyogedde.
    12 Bakabona abakulu n'abakadde bwe baamuloopa, n'ataddamu n'akatono.
    13 Awo Piraato n'amugamba nti Towulira bigambo bino bye bakulumiriza bwe biri?
    14 Naye teyamuddamu na kigambo na kimu: ow'essaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo.
    15 Naye ku mbaga ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga.
    16 Era mu biro ebyo baalina omusibe omumanyi, ayitibwa Balaba.
    17 Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti Aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?
    18 Kubanga yamanya nga bamuweesezzaayo buggya.
    19 Naye bwe yatuula ku ntebe ey'emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti Omuntu oyo omutuukirivu tomukola kintu n'akatono: kubanga nnalumiddwa leero bingi mu kirooto ku lulwe.
    20 Naye bakabona abakulu n'abakadde ne babuulirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirize Yesu.
    21 Naye ow'essaza n'addamu n'abagamba nti Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Ne bagamba nti Balaba.
    22 Piraato n'abagamba nti Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo? Bonna ne bagamba nti Akomererwe.
    23 Naye n'agamba nti Lwaki? ekibi ky'akoze kiruwa? Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti Akonererwe.
    24 Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi,n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu: musango gwammwe.
    25 Abantu bonna ne baddamu ne Bagamba nti Omusaayi gwe gubeere ku ffe, ne ku baana baffe.
    26 Awo n'abasumululira Balaba : naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa.
    27 Awo basserikale b'ow'essaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna.
    28 Ne bamwambula, ne bamwambaza olugoye olumyufu.
    29 Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!
    30 Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe.
    31 Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulako olugoye, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera.
    32 Naye bwe baali bafuluma, ne basisinkana omu Omukuleene, erinnya lye Simooni: ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwe.
    33 Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga,
    34 ne bamuwa omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa: naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa.
    35 Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu;
    36 ne batuula awo ne bamutunuulira.
    37 Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango gwe oguwandiikiddwa nti ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.
    38 Awo abanyazi babiri ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, omulala ku gwa kkono.
    39 N'abaali bayita ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe,
    40 nga bagamba nti Ggwe amenya yeekaalu, agizimbira ennaku essatu, weerokole: oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.
    41 Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti
    42 Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.
    43 Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala: kubanga yagamba nti Ndi Mwana wa Katonda.
    44 Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo.
    45 Naye okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
    46 Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
    47 Naye abalala abaali bayimiridewo, bwe baawulira, ne bagamba nti Ono ayita Eriya.
    48 Amangu ago munnaabwe omu n'addukana, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa.
    49 Naye abalala ne bagamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumulokola.
    50 Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe.
    51 Laba, eggigi lya yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika:
    52 entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa;
    53 ne bava mu ntaana bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, bangi ne babalaba.
    54 Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga batunuulira Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Mazima ono abadde Mwana wa Katonda.
    55 Waaliwo n'abakazi bangi abaayimirira ewala nga balengera, abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, abaamuweerezanga:
    56 mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo.
    57 Naye obudde bwali buwungeera, n'ajja omuntu omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu, era naye yali muyigirizwa wa Yesu:
    58 oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa.
    59 Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru,
    60 n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi: n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
    61 Waaliwo Malyamu Magudaleene, ne Malyamu ow'okubiri, nga batudde mu maaso g'entaana.
    62 Naye enkya, lwe lunaku olwaddirira olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato,
    63 ne bagamba nti Omwami, tujjukidde omulimba oyo eyagamba ng'akyali mulamu nti Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira.
    64 Kale lagira bakuumire ddala amalaalo okutuusa ku lunaku olw'okusatu, abayigirizwa be batera okujja okumubba, bagambe abantu nti Azuukidde mu bafu: era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.
    65 Piraato n'abagamba nti Mulina abakuumi: mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza.
    66 Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala amalaalo, ejjinja ne balissaako akabonero, n'abakuumi nga weebali.