Matayo

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

  • 1 Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.
    2 Naye bannaabwe abataano baali basirusiru, n'abataano be baalina amagezi.
    3 Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta:
    4 naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe.
    5 Naye anaawasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka.
    6 Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.
    7 Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe.
    8 Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.
    9 Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne bagamba nti Wozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulire.
    10 Bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n'ajja: n'abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole: oluggi ne luggalwawo.
    11 Oluvannyuma abawala bali abalala nabo ne bajja, ne bagamba nti Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo.
    12 Naye n'addamu n'agamba Mazima mbagamba nti sibamanyi:
    13 Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.
    14 Kubanga buli ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye.
    15 N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu; buli muntu ng'obuyinza bwe bwe bwali; n'agenda,
    16 Amangu ago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.
    17 Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'aviisaamu bbiri endala.
    18 Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima mu ttaka, n'akweka effeeza ya mukama we.
    19 Awo ebiro bingi bwe byayita, mukama w'abaddu bali n'ajja, n'abala nabo omuwendo.
    20 N'oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano: laba, naviisaamu ettalanta ttaano endala.
    21 Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.
    22 N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala.
    23 Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.
    24 N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanavu ng'okungulira gy’otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy’otaayiyira:
    25 ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo: laba, eyiyo oli nayo.
    26 Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti Oli muddu mubi mugayaavu, wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira;
    27 kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu.
    28 Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi.
    29 Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi: naye atalina, aliggibwako na kiri ky'ali nakyo.
    30 N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.
    31 Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye:
    32 n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng'omusumba bw'ayawulamu endiga n'embuzi:
    33 endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono.
    34 Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi:
    35 kubanga nnalina enjala ne mumpa ekyokulya: nnalina ennyonta ne munnywesa: nnali mugenyi ne munsuza;
    36 nnali bwereere ne munnyambaza: nnali mulwadde ne munnambula: nnali mu nvuba, ne mujja mundaba.
    37 Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?
    38 Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? oba ng'oli bwereere ne tukwambaza?
    39 Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba mu nvuba, ne tujja tukulaba?
    40 Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.
    41 Awo libagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be:
    42 kubanga nnalina enjala, temwampa kyakulya: nnalina ennyonta, temwannywesa:
    43 nnali mugenyi, temwansuza: nnali bweeere, temwannyambaza: mulwadde, ne mu nvuba, temwannambula.
    44 Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bweeere, oba mulwadde, oba mu nvuba, ne tutakuweereza?
    45 Awo alibaddamu, ng'agamba nti Mazima nbagamba nti Nga bwe mutaakola omu ku abo abasinga obuto, temwakikola nze.
    46 Ne bano baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.