-
1 Mwekuume obutakoleranga bigambo byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu, era babalabe: kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera eri Kitammwe ali mu ggulu.
2 Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, nga bannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.
3 Naye ggwe, bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo bye gukola:
4 okugaba kwo kubeerenga kwa kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
5 Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi: kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe.
6 Naye ggwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.
7 Nammwe bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola: kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi.
8 Kale, temufaanana nga bo: kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.
9 Kale, musabenga bwe muti, nti, Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.
10 Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11 Otuwe leero emmere yaffe eya leero.
12 Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.
13 Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi. Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.
14 Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe.
15 Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.
16 Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku: kubanga beeyonoona amaaso gaabwe, era abantu babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.
17 Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso;
18 abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
19 Temweterekeranga bintu ku nsi kwe byonoonekera n’ennyenje n'obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba:
20 naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira; so gye batabbira:
21 kubanga ebintu byo we bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera.
22 Ettabaaza y'omubiri lye liiso: eriiso lyo bwe liraba awamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala.
23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kyenkana wa obunene!
24 Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri: kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.
25 Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki; mulinywa ki; newakubaade omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebukira mmere; n’omubiri tegukira byakwambala?
26 Mulabe ennyonyi ez'omu bbanga, nga tezisiga, so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika; era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo?
27 Ani mu mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okweyongerako ku bukulu bwe n'akaseera akamu?
28 Naye ekibeeraliikiriza ki eby'okwambala? Mutunuulire amalanga ag'omu ttale, bwe gamera; tegakola mulimu, so tegalanga lugoye:
29 naye mbagamba nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
30 Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
31 Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki?
32 Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.
33 Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.
34 Kale temweraliikiriranga bya jjo: kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala.